Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joshua 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Joshua rose early, and he and all Israel set out from Shittim, reached the Jordan, and camped there before crossing over. Mu makya ennyo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka.
2 Three days later the officers went through the camp, Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu
3 and commanded the people: "When you see the ark of the covenant of your Father carried by the Levitical priests, leave your place and follow it. nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera,
4 Only keep a distance between yourselves and it, about 3,000 feet by measure; don't come near it, so you may know the way to go, since you have not traveled this way before." kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”
5 Joshua told the people, "Dedicate yourselves—tomorrow our Father will do wonders among you." Awo Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.”
6 Then Joshua told the priests, "Take up the ark of the covenant and cross ahead of the people." So they took up the ark of the covenant and went ahead of the people. Ate Yoswa n’agamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.
7 Our Father said to Joshua, "Today I will begin to exalt you before all Israel, so they may know that as I was with Moses, I will be with you. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso g’Abayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe.
8 Command the priests carrying the ark of the covenant: 'When you reach the edge of Jordan's water, stand still in the Jordan.'" Bw’otyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.”
9 Joshua said to the Israelites, "Come here and listen to the words of your Father." Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.
10 Joshua said, "This is how you will know the living Father is among you: he will surely drive out before you the Canaanites, Hittites, Hivites, Perizzites, Girgashites, Amorites, and Jebusites. Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, n’Abakiiti, n’Abakiivi, n’Abaperezi, n’Abagirugaasi, n’Abamoli, n’Abayebusi mmwe nga mulaba.
11 Look—the ark of the covenant of the Sovereign of all the earth crosses ahead of you into the Jordan. Laba, Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama w’ensi zonna y’eneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani.
12 Now then, choose twelve men from the tribes of Israel, one man from each tribe. Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu:
13 When the soles of the feet of the priests carrying the ark of the Sovereign Father of all the earth come to rest in the Jordan's waters, the Jordan's waters will be cut off—the water flowing from above—and stand in one heap." Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama w’ensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”
14 When the people left their tents to cross the Jordan, priests carried the covenant ark ahead of them, Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko y’Endagaano.
15 as those carrying the ark reached the Jordan, and the priests' feet carrying the ark dipped in the water's edge (for the Jordan overflows all its banks all harvest days), Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani.
16 the water flowing from upstream stood, rising into one heap far off at Adam, the city near Zarethan, while the water flowing down to the Sea of the Arabah, the Dead Sea, was completely cut off. So the people crossed opposite Jericho. Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko.
17 The priests carrying the ark of our Father's covenant stood firm on dry ground in the Jordan's middle, while all Israel crossed on dry ground until the whole nation finished crossing the Jordan. Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]