Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Joshua 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After Moses our Father's servant died, our Father told Joshua son of Nun, Moses' assistant: Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti,
2 "Moses my servant is dead. Now get up, cross the Jordan, you and all these people, into the land I am giving them, the children of Israel. “Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu n’abantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri.
3 Every place where you set foot I have given to you, just as I promised Moses. Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo.
4 Your territory will run from the wilderness and this Lebanon to the great river Euphrates—all the Hittite land—and to the Great Sea toward the sunset. Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, n’ensi ey’Abakiiti n’okutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.
5 No one will stand against you all your life. As I was with Moses, I will be with you; I will not leave or abandon you. Tewali n’omu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ez’obulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.
6 "Be strong and courageous, for you will lead these people to inherit the land I swore to their ancestors I would give them. “Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe.
7 Only be strong and very courageous, careful to obey all the law Moses my servant commanded you. Do not turn from it right or left, so you may succeed wherever you go. Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga.
8 Never let this Book of the Law leave your lips; think on it day and night, to carefully do all written in it. Then your way will thrive and you will succeed. Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.
9 Have I not commanded you? Be strong and courageous. Do not fear or be discouraged, for I, your Father, am with you wherever you go." Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga.”
10 Then Joshua commanded the officers of the people: Bw’atyo ne Yoswa n’alagira abakulembeze b’Abayisirayiri nti,
11 "Go through the camp and command the people: 'Prepare provisions, for in three days you cross the Jordan to enter and take the land your Father is giving you to possess.'" “Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa.’ ”
12 To the Reubenites, the Gadites, and the half-tribe of Manasseh, Joshua said: Yoswa n’agamba ab’ekika kya Lewubeeni, n’ab’ekika kya Gaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase nti,
13 "Remember what Moses, our Father's servant, commanded you: 'Your Father is giving you rest and will give you this land.' “Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ng’agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky’okuwummuliramu era alibawa ensi eno.’
14 Your wives, children, and livestock stay in the land Moses gave you east of the Jordan; but all you warriors cross over armed ahead of your brothers to help them, Bakazi bammwe, n’abaana bammwe abato balisigala wano awamu n’amagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu n’okubalwanirira,
15 until our Father gives your brothers rest, as he gave you, and they too take the land he is giving them. Then return to your own land and take it—the land Moses, our Father's servant, gave you beyond the Jordan toward the sunrise." okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lw’alibawa ensi eyo n’abatebenkeza. N’oluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”
16 They answered Joshua, "All you have commanded us we will do, and wherever you send us we will go. Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna by’otukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gy’onootusindika.
17 As we obeyed Moses in everything, we will obey you. Only may your Father be with you, as he was with Moses. Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa.
18 Anyone who rebels against your command and disobeys your words, whatever you command, must be put to death. Only be strong and courageous." Buli anaajeemeranga ebigambo byo n’atabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]