Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 50 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?Oba nabatunda eri ani?Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.

2Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?Mbuliddwa amaanyi agakununula?Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,emigga ne ngifuula eddungu,ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,ne bivunda olw’okubulwa amazzi.

3Nyambaza eggulu,n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”

4Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimioluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.Anzukusa buli nkya,buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.

5Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwangene siba mujeemu.Sizzeeyo mabega.

6N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.Saakweka maaso gange eri abo abansekereran’eri abo abanfujjira amalusu.

7Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyambakyennaava siswazibwa.Noolwekyo kyenvudde n’egumyaera mmanyi nti siriswazibwa.

8Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.Ani alinnumiriza omusango?Twolekagane obwenyi.Ani annumiriza?Ajje annumbe.

9Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.Ani alinsalira omusango?Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;ennyenje ziribalya.

10Ani ku mmwe atya Mukama,agondera ekigambo ky’omuweereza we?Oyo atambulira mu kizikiza,atalina kitangaalayeesige erinnya lya Mukamaera yeesigame ku Katonda we.

11Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;muligalamira mu nnaku.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]