Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father blessed Noah and his sons, saying, "Be fruitful and multiply and fill the earth. Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
2 Every animal of the earth, every bird of the sky, everything that crawls on the ground, and every fish of the sea will fear and dread you; they are given into your hand. Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
3 Every living, moving thing will be your food. As I gave you the green plants, I now give you everything. Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
4 But you must not eat meat that still has its lifeblood in it. “Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo.
5 I will surely demand an accounting for your blood: from every animal I will demand it, and from every person—each for his brother's life—I will demand a human life. Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
6 Whoever sheds human blood, by humans will their blood be shed; for in the image of God, humanity was made. “Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, n’ogugwe gunaayiibwanga, kubanga mu kifaananyi kya Katonda, Katonda mwe yakolera omuntu.
7 As for you, be fruitful and multiply; swarm across the earth and multiply on it." Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
8 Then our Father said to Noah and to his sons with him: Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali
9 "As for me, I am now establishing my covenant with you and with your descendants after you, nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe,
10 and every living creature with you—birds, livestock, every wild animal of the earth—all that came out of the ark with you, every living thing of the earth. era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi.
11 I set my covenant with you: never again will all flesh be cut off by floodwaters; never again a flood to destroy the earth." Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
12 Then our Father said, "This is the sign of the covenant I'm making between me and you and every living creature with you, for all generations to come: Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo.
13 I have put my rainbow in the clouds as the sign of the covenant between me and the earth. Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
14 Whenever I bring clouds over the earth and the rainbow appears in the clouds, “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire,
15 I will remember my covenant between me and you and every living creature of every kind: never again will floodwaters destroy all life. ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.
16 When the rainbow is in the clouds, I will see it and remember the everlasting covenant between me and every living creature of every kind on earth." Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
17 So our Father told Noah, "This is the sign of the covenant I've established between me and all life on earth." Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
18 Noah's sons who left the ark: Shem, Ham, and Japheth. (Ham was Canaan's father.). Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
19 These three were the sons of Noah, and from them the whole earth was populated. Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
20 Noah, a man of the soil, was the first to plant a vineyard. Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu;
21 When he drank some of its wine, he became drunk and lay uncovered inside his tent. n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere.
22 Ham, the father of Canaan, saw his father naked and told his two brothers outside. Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru.
23 Shem and Japheth took a cloak, laid it on both their shoulders, walked in backward, and covered their father's nakedness; their faces were backward, so they did not see their father's nakedness. Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
24 When Noah awoke from his wine and learned what his youngest son had done to him, Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
25 he said, "Cursed be Canaan! He will be the lowest of servants to his brothers." N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti, “Kanani akolimirwe, abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
26 He also said, "Blessed be the Father of Shem; may Canaan be Shem's servant. Era n’agamba nti, “Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa, Kanani abeere muddu we.”
27 May our Father extend Japheth's territory; may Japheth dwell in the tents of Shem, and may Canaan be Shem's servant." Katonda yaza Yafeesi, abeere mu weema za Seemu, Kanani abeere muddu we.
28 After the flood Noah lived 350 years. Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano.
29 Noah lived a total of 950 years, and then he died. Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]