Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But our Father remembered Noah, all the living creatures, and all the livestock with him in the ark, and swept a wind over the earth so the waters began to recede. Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera;
2 The springs of the deep and heaven's floodgates closed, and rain from the sky stopped. ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa,
3 Water kept receding from the earth, and after 150 days it had gone down. n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde;
4 The ark rested on the mountains of Ararat on the seventeenth day of the seventh month. ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati.
5 The waters kept receding until the tenth month; on its first day, the mountaintops appeared. Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
6 After forty days, Noah opened the window he had made in the ark, Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato
7 he sent out a raven, and it flew back and forth until the waters dried up from the earth. n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira.
8 Then he released the dove from him to see if the waters had subsided from the ground's surface. Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi;
9 But the dove found no resting place for her foot and returned to him in the ark, since water still covered the whole earth's surface. So he reached out his hand, took her, and brought her back into the ark. naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato.
10 He waited seven more days and again sent out the dove from the ark. N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato;
11 The dove returned to him that evening with a freshly plucked olive leaf in her beak, so Noah knew the waters had receded from the earth. ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi.
12 He waited seven more days, then sent the dove out again; it did not return to him again. Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
13 In Noah's 600 and first year, the first day of the first month, the waters had dried up from the earth. Noah removed the ark's covering, looked out, and saw the ground's surface was dry. Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde.
14 By the twenty-seventh day of the second month the earth was completely dry. Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
15 Then our Father said to Noah, Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti,
16 "Leave the ark: you and your wife and your sons and your sons' wives with you. “Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe.
17 Bring out with you every living creature—all flesh: birds, animals, everything that crawls on the ground—so they may swarm across the earth, be fruitful, and multiply on the earth." Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
18 So Noah came out, together with his sons and his wife and his sons' wives. Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be.
19 Every animal, every crawling thing, every bird—everything that moves on the earth—left the ark by their kinds. N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
20 Noah built an altar to our Father, took some of every clean animal and every clean bird, and offered burnt offerings on it. Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
21 Our Father smelled the pleasing aroma and said in his heart, "I will never again curse the ground because of humanity, though the human heart's inclination is evil from youth, nor will I ever again strike down every living thing as I have done. Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
22 As long as the earth endures, seedtime and harvest, cold and heat, summer and winter, day and night will never cease." “Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]