Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father told Noah, "Enter the ark with your whole household, for I've seen you righteous before me in this generation. Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.
2 Take for yourself seven pairs of every clean animal, male and female, and one pair of unclean animals, male and female, Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi,
3 also seven pairs of sky birds, male and female, to keep offspring alive across all the earth. era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi.
4 For in seven days I'll rain on the earth forty days and forty nights, and wipe out every living thing I made from the face of the ground." Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
5 Noah did everything our Father commanded him. Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.
6 Noah was 600 years old when the floodwaters came upon the earth. Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi.
7 He, his sons, his wife, and his sons' wives entered the ark to escape the floodwaters. Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba.
8 Of clean animals and animals not clean, of birds and all that crawls on the ground. Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula,
9 Two by two, male and female, came to Noah in the ark, as our Father commanded Noah. ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira.
10 After the seven days, the floodwaters came upon the earth. Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.
11 In Noah's six hundredth year, second month, day seventeen—that same day—all springs of the great deep burst open, and heaven's floodgates opened. Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu.
12 The rain fell on the earth for forty days and forty nights. Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro.
13 That day Noah entered the ark—he, his sons Shem, Ham, Japheth, his wife, and his sons' three wives. Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.
14 They and every wild animal by their kind, every livestock by their kind, every crawler on earth by their kind, every bird by their kind, every winged creature. Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato.
15 They came to Noah, into the ark, two by two, all flesh with breath of life. Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu.
16 Male and female of all flesh entered, as our Father commanded him; then our Father shut him in. Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
17 The flood lasted forty days on the earth; the waters rose, lifted the ark, floating above the earth. Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi.
18 Waters surged and rose greatly over the earth, and the ark floated on the water's surface. Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.
19 Waters rose higher and higher on the earth, covering all the high mountains under the whole sky. Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka.
20 About twenty-two feet deep the waters rose above the mountains, covering them. Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu.
21 Everything moving on earth died: birds, livestock, wild animals, all creatures swarming the earth, and all mankind. Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna.
22 Everything on dry land that had the breath of life in its nostrils died. Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa.
23 Our Father wiped out every living thing on the ground's face—people, animals, crawling creatures, birds of the sky—and wiped them from the earth. Only Noah and those with him in the ark remained. Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
24 And the waters prevailed over the earth 150 days. Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]