Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When humanity began to multiply on the earth and daughters were born to them, Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala.
2 the sons of divine origin saw the daughters of human origin were beautiful, and took as wives any they chose. Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera.
3 Then our Father said, "My Spirit will not wrestle with humanity forever, for they are flesh; their days will be 120 years." Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
4 The Nephilim were on the earth in those days, and afterward too, when the sons of divine origin came to the daughters of human origin, who bore them children. These were the mighty men of old, men of renown. Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
5 Our Father saw how great human wickedness had become on the earth—every thought and desire of their hearts only evil all the time. Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna.
6 He was grieved he had made humanity on the earth, and his heart filled with pain. Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe.
7 So our Father said, "I will wipe out humanity, whom I created, from the face of the earth—people, animals, crawling things, and birds of the sky—for I regret making them." Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
8 But Noah found favor in the eyes of our Father. Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
9 This is Noah's account. Noah was a righteous man, blameless among the people of his time, and Noah walked faithfully with our Father. Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda.
10 And Noah had three sons: Shem, Ham, and Japheth. Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
11 The earth was corrupt before our Father, and filled with violence. Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu.
12 Our Father saw the earth was corrupt, for all flesh had corrupted their ways on the earth. Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu.
13 Then our Father said to Noah, "The end of all flesh has come before me, for the earth is full of violence because of the people. I am going to destroy them with the earth. Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi.
14 Build yourself an ark of cypress wood; make rooms in it and coat it inside and out with pitch. Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu.
15 Make it like this: the ark about 450 feet long, seventy-five feet wide, forty-five feet high. Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
16 Make a roof for the ark, finishing it eighteen inches from the top. Put a door in its side, and build it with lower, middle, and upper decks. Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu.
17 I myself am bringing floodwaters on the earth to destroy all flesh with the breath of life in it under the heavens; everything on the earth will die. Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa.
18 But I will establish my covenant with you, and you will enter the ark—you, your sons, your wife, and your sons' wives with you. Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe.
19 Bring two of every living creature into the ark to keep alive with you—a male and a female. Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe.
20 Of the birds by kind, the animals by kind, every crawling thing of the ground by kind, two of each will come to you to be kept alive. Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu.
21 Take every kind of food that can be eaten and store it up; it will be food for you and for them." Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”
22 Noah did everything just as our Father commanded him. Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]