Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 46 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So Israel set out with all he had, came to Beersheba, and sacrificed to our Father, whom his father Isaac had worshiped. Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2 And our Father spoke to Israel in visions of the night, "Jacob, Jacob." He said, "Here I am." Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?” N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
3 He said, "I am your Father, whom your father worshiped. Do not be afraid to go down to Egypt, for there I will make you a great nation. Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene.
4 I myself will go down with you to Egypt, and I will surely bring you back; and Joseph's own hand will close your eyes." Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
5 Jacob set out from Beersheba. Israel's sons carried their father Jacob, their little ones, and their wives in the wagons Pharaoh had sent for him. Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala.
6 They took their livestock and the goods they had acquired in the land of Canaan, and came to Egypt—Jacob and all his offspring with him. Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye.
7 His sons and grandsons, daughters and granddaughters—all his offspring he brought with him to Egypt. Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.
8 These are the names of Israel's sons who came into Egypt—Jacob and his sons: Reuben, Jacob's firstborn. Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo: Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
9 The sons of Reuben: Hanoch, Pallu, Hezron, and Carmi. ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
10 The sons of Simeon: Jemuel, Jamin, Ohad, Jachin, Zohar, and Shaul the son of a Canaanite woman. Ne batabani ba Simyoni: Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.
11 The sons of Levi: Gershon, Kohath, and Merari. Ne batabani ba Leevi: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
12 Judah's sons: Er, Onan, Shelah, Perez, Zerah; but Er and Onan died in Canaan. Perez's sons: Hezron and Hamul. N’aba Yuda: Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Batabani ba Pereezi baali: Kezulooni ne Kamuli.
13 The sons of Issachar: Tola, Puvah, Iob, and Shimron. Bo aba Isakaali baali: Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.
14 The sons of Zebulun: Sered, Elon, and Jahleel. Batabani ba Zebbulooni baali Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.
15 These are Leah's sons, born to Jacob in Paddan-aram, with his daughter Dinah; his sons and daughters numbered thirty-three. Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
16 The sons of Gad: Ziphion, Haggi, Shuni, Ezbon, Eri, Arodi, and Areli. Batabani ba Gaadi baali Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.
17 Asher's sons: Imnah, Ishvah, Ishvi, Beriah, and their sister Serah. Beriah's sons: Heber and Malchiel. Bo batabani ba Aseri be bano: Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya awamu ne Seera mwannyinaabwe. Bo Batabani ba Beriya baali Keba ne Malukiyeeri.
18 These are the sons of Zilpah, whom Laban gave to his daughter Leah; she bore these to Jacob—sixteen in all. Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
19 The sons of Rachel, Jacob's wife: Joseph and Benjamin. Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano Yusufu ne Benyamini.
20 Manasseh and Ephraim were born to Joseph in Egypt by Asenath, daughter of Potiphera, priest of On. Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
21 The sons of Benjamin: Bela, Becher, Ashbel, Gera, Naaman, Ehi, Rosh, Muppim, Huppim, and Ard. Ne batabani ba Benyamini be ba: Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.
22 These are the sons of Rachel who were born to Jacob—fourteen persons in all. Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
23 The sons of Dan: Hushim. Mutabani wa Ddaani ye Kusimu.
24 The sons of Naphtali: Jahzeel, Guni, Jezer, and Shillem. Bo aba Nafutaali be ba: Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25 These are Bilhah's sons, whom Laban gave to his daughter Rachel; she bore these to Jacob—seven in all. Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
26 Jacob's direct descendants who came to Egypt—excluding his sons' wives—totaled sixty-six. Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga.
27 Joseph had two sons born in Egypt. Jacob's household that came to Egypt numbered seventy in all. Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu.
28 Jacob sent Judah ahead to Joseph to lead the way to Goshen; they reached the land of Goshen. Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni.
29 Joseph readied his chariot and went up to Goshen to meet his father Israel. He appeared to him, fell on his neck, and wept on his neck a long time. Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
30 Israel said to Joseph, "Now let me die, since I've seen your face and you're still alive." Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
31 Joseph told his brothers and his father's household, "I will go up and tell Pharaoh, and say to him, 'My brothers and my father's household, who were in Canaan, have come to me. Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi.
32 The men are shepherds, for they have been keepers of livestock; they've brought their flocks, herds, and all they have.' Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’
33 When Pharaoh calls you and says, 'What is your occupation?' Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’
34 you will say, 'Your servants have raised livestock from our youth until now, we and our fathers,' so you may settle in Goshen; for every shepherd is detestable to the Egyptians." Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]