Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 45 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Joseph could not control himself before everyone standing by him, so he cried out, "Send everyone away from me!" No one stayed with him when Joseph made himself known to his brothers. Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be.
2 He wept so loudly that the Egyptians heard it, and Pharaoh's household heard it. Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.
3 Joseph said to his brothers, "I am Joseph! Is my father still alive?" His brothers could not answer him, for they were terrified at his presence. Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.
4 Joseph said to his brothers, "Please, come close to me." They came close. He said, "I am your brother Joseph, whom you sold into Egypt. Awo Yusufu n’agamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gy’ali. N’abagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri.
5 Now don't be distressed or angry with yourselves for selling me here, since our Father sent me ahead of you to preserve life. Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu.
6 Famine has been in the land two years now; five more years remain with no plowing or harvest. Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula.
7 Our Father sent me ahead of you to preserve a remnant for you on earth, and keep you alive as a great band of survivors. Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo.
8 So now, it wasn't you who sent me here, but our Father—he made me father to Pharaoh, lord of all his household, and ruler over all the land of Egypt. “Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri.
9 Hurry, go up to my father, tell him: Your son Joseph says: Our Father has made me lord of all Egypt. Come down to me; don't delay. Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa;
10 You'll live in Goshen, near me—you, your children, your children's children, your flocks, your herds, all you own. ojja kubeera mu Goseni, olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina;
11 I will provide for you there—five years of famine remain—so you, your household, and all you own don't fall into poverty. eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’
12 Your eyes see, and my brother Benjamin's eyes see, that it is my own mouth speaking to you. “Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe.
13 Tell my father all my honor in Egypt, and all you have seen. Hurry and bring my father down here. Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.”
14 Then he threw his arms around his brother Benjamin and wept, and Benjamin wept on his neck." Awo Yusufu n’agwa Benyamini mu kifuba n’akaaba ne Benyamini n’akaabira ku kibegabega kye.
15 He kissed all his brothers and wept over them. After that his brothers talked with him. N’agwa baganda be mu kifuba, n’akaabira buli omu ku bo; n’oluvannyuma baganda be ne boogera naye.
16 News reached Pharaoh's house: "Joseph's brothers have come." It pleased Pharaoh and his officials. Ebigambo eby’okujja kwa baganda ba Yusufu bwe byawulirwa mu nnyumba ya Falaawo ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaweereza be.
17 Pharaoh said to Joseph, "Say to your brothers: do this—load your animals, go, return to the land of Canaan. Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mukole bwe muti: mutikke ensolo zammwe muddeyo mu nsi ya Kanani,
18 Take your father and your households and come to me. I will give you the best of Egypt's land, and you will eat the richness of the land. munone kitammwe n’abantu bammwe n’ebyammwe mujje gye ndi, ndibawa ekifo ekisinga obulungi mu nsi y’e Misiri, nammwe mulirya obulungi obw’ensi.’
19 You are commanded: tell them, 'Do this—take wagons from Egypt for your children and wives, bring your father, and come. “Era balagire batwale amagaali okuva mu nsi y’e Misiri olw’abaana baabwe abato ne bakyala bammwe, mujje ne kitammwe.
20 Don't worry about your belongings—the best of all Egypt's land is yours.'" Wabula ebintu byammwe tebibateganya nnyo, kubanga ebisinga obulungi mu Misiri yenna bijja kuba byammwe.”
21 The sons of Israel did so; Joseph gave them wagons per Pharaoh's order, and gave them provisions for the road. Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo; Yusufu n’abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira n’abawa n’entanda ey’omu kkubo.
22 He gave each a change of clothes, but Benjamin 300 pieces of silver and five changes of clothes. Buli omu ku bo n’amuwa ebyambalo eby’okukyusa, naye ye Benyamini n’amuwa ebitundu bya ffeeza ebikumi bisatu n’ebyambalo eby’okuwanyisa emigogo etaano.
23 He sent his father ten donkeys loaded with Egypt's best, and ten female donkeys loaded with grain, bread, and food for his journey. Kitaawe n’amuweereza endogoyi kkumi ezeetisse ebintu ebirungi eby’e Misiri n’endogoyi enkazi kkumi ezeetisse emmere, emigaati n’entanda ya kitaawe bw’aliba ajja.
24 He sent his brothers off; as they left, he said, "Don't quarrel on the way." Awo n’asiibula baganda be. Bwe baali bagenda n’abagamba nti, “Temuyombera mu kkubo.”
25 So they left Egypt and came to their father Jacob in Canaan. Bwe batyo ne bambuka okuva mu Misiri ne batuuka mu nsi ya Kanani eri kitaabwe Yakobo.
26 They told him, "Joseph is still alive—ruler over all Egypt!" But his heart went numb; he didn't believe them. Bwe baatuuka ne bamutegeeza nti Yusufu akyali mulamu, era y’afuga ensi y’e Misiri yonna. Bwe yawulira ebyo n’awunga n’atasobola kubakkiriza.
27 But when they told him all Joseph's words to them, and he saw the wagons Joseph sent to carry him, their father Jacob's spirit revived. Naye bwe baamutegeeza ebigambo bya Yusufu byonna bye yabagamba, era bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwala n’addamu omwoyo;
28 Israel said, "Enough! Joseph my son is still alive. I will go and see him before I die." n’agamba nti, “Mmatidde, omwana wange Yusufu akyali mulamu. Nzija kugenda mulabe nga sinnafa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]