Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 44 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then he told his house steward: "Fill the men's sacks with food, as much as they can carry, and put each man's silver at his sack's opening. Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye.
2 Put my cup, the silver cup, in the mouth of the youngest's sack, with his grain money." He did as Joseph said. Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.
3 As soon as the morning was light, the men were sent away with their donkeys. Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe.
4 They had left the city, not yet far off, when Joseph told his steward, "Chase down the men. When you catch them, ask, 'Why have you repaid evil for good? Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza?
5 Isn't this the cup my lord drinks from and uses for fortune-telling? What you've done is evil.'" Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”
6 When he overtook them, he spoke these words to them. Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo.
7 They said, "Why does my lord say such things? Your servants would never do such a thing. Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo?
8 Look, we brought back to you from Canaan the silver we found in our sacks' openings. How could we steal silver or gold from your master's house? Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?
9 Whichever of your servants it's found with will die, and we'll become my lord's slaves too." Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”
10 He said, "Good—let it be as you say. Whoever has it will be my slave; the rest of you are innocent." N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.”
11 Then each man quickly lowered his sack to the ground, and each man opened his sack. Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula.
12 He searched, starting with the oldest, ending with the youngest—the cup was found in Benjamin's sack. N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.
13 Then they tore their clothes, and every man loaded his donkey, and they returned to the city. Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
14 When Judah and his brothers reached Joseph's house, he was still there, and they fell to the ground before him. Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira.
15 Joseph said to them, "What have you done? Don't you know a man like me surely tells fortunes?" Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”
16 Judah said, "What can we say to my lord? What can we speak? How can we clear ourselves? Our Father has found your servants' guilt. Look—we are my lord's slaves, both we and the one in whose hand the cup was found." Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.”
17 But he said, "I could never do this. Only the man in whose hand the cup was found will be my slave. The rest of you, go back to your father in peace." Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”
18 Then Judah stepped forward and said, "Please, my lord, let your servant speak a word to you. Don't be angry with your servant, for you are like Pharaoh himself. Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini.
19 My lord asked his servants, saying, 'Do you have a father or a brother?' Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’
20 We said to my lord, 'We have an old father, and a young son born late in life. His brother is dead; he alone is left of his mother's children, and his father loves him.' Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’
21 Then you told your servants, 'Bring him down to me so I can see him myself.' “N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’
22 We told my lord, 'The boy can't leave his father, because if he does, his father will die.' Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’
23 You told your servants, 'If your youngest brother doesn't come down with you, you won't see my face again.' N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’
24 When we went back to my father, your servant, we told him what you had said. Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange.
25 And when our father said, 'Go again, buy us a little food,' Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’
26 we said, 'We can't go down. If our youngest brother comes with us, then we will go. For we can't see the man's face unless our youngest brother is with us.' ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’
27 Then your servant my father said to us, 'You know that my wife bore me two sons. “Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri;
28 One left me, and I said, "Surely torn to pieces"; I haven't seen him since. omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba.
29 If you take this one too from me, and harm meets him, you'll bring my gray head down to the grave in grief. Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’
30 So when I come to your servant, my father, and the boy isn't with us, his life is bound to the boy's life, “Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi,
31 when he sees the boy is gone, he'll die, and your servants will bring your servant our father down to the grave in sorrow.' bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we.
32 For your servant guaranteed the boy to my father, saying, 'If I don't bring him back to you, I'll bear the guilt before my father all my life.' Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’
33 So please, let your servant stay as my lord's slave instead of the boy, and let the boy return with his brothers. “Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be.
34 How can I return to my father without the boy? I could not bear to see the disaster that would strike my father." Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]