Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 41 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After two full years had passed, Pharaoh had a dream: he was standing beside the Nile. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira;
2 Seven cows, sleek and fat, came up from the Nile and grazed among the reeds. laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu.
3 Seven other cows, ugly and bony, came up after them from the Nile and stood beside them on the Nile's bank. Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga.
4 Ugly, thin cows ate the seven fine, fat cows, and Pharaoh woke up. Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka.
5 He fell asleep again and had a second dream: seven heads of grain, plump and good, grew on one stalk. Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu.
6 Then after them, seven heads of grain sprouted up—thin and scorched by the east wind. Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira.
7 The thin heads swallowed the seven plump, full heads. Then Pharaoh woke up—it had been a dream. Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.
8 In the morning his spirit was troubled; he sent and called all Egypt's magicians and all its wise men. Pharaoh told them his dreams, but none could interpret them for him. Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.
9 Then the chief cupbearer said to Pharaoh, "Today I am reminded of my offenses. Awo omusenero wa Falaawo n’agamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo.
10 Pharaoh was angry with his servants and put me in custody in the guard captain's house, with the chief baker. Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze n’omukulu w’abafumbi n’atuteeka mu kkomera,
11 I and he each dreamed the same night, each dream with its own meaning. ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo.
12 A young Hebrew, servant of the guard captain, was with us. We told him our dreams, and he interpreted each according to its own meaning. Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali.
13 Just as he interpreted for us, it happened: I was restored to my position, the other was hanged." Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”
14 Pharaoh sent for Joseph, and they rushed him from the dungeon. He shaved, changed his clothes, and came before Pharaoh. Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo.
15 Pharaoh said to Joseph, "I've had a dream no one can interpret. I've heard about you that when you hear a dream, you can interpret it." Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.”
16 "I can't do that on my own," Joseph replied. "Our Father will give Pharaoh a favorable answer." Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
17 Then Pharaoh said to Joseph, "In my dream I was standing on the bank of the Nile. Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira;
18 Seven fat, sleek cows came up from the Nile and grazed among the reeds. ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu;
19 Then seven other cows came up after them—scrawny, very ugly, thin-fleshed—the like I had never seen in all the land of Egypt. ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja.
20 The gaunt, ugly cows ate the first seven fat cows. Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose,
21 Even after eating them, no one could tell, for they still looked as bad as before. Then I woke up. naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
22 In my dream I saw seven heads of grain grow on one stalk, full and good. “Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu,
23 And after them sprouted seven heads of grain—withered, thin, and scorched by the east wind. n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo.
24 The thin heads swallowed the seven good heads. I told the magicians, but none could explain it to me." Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”
25 Joseph said to Pharaoh, "Pharaoh's dreams are one: our Father has revealed to Pharaoh what he's about to do. Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola.
26 The seven good cows are seven years, and the seven good heads of grain are seven years—it is one dream. Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu.
27 The seven thin, ugly cows that came up after them are seven years, and the seven empty heads scorched by the east wind are seven years of famine. Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.
28 This is what I told Pharaoh: our Father has shown Pharaoh what he is about to do. “Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola.
29 Seven years of great abundance are coming throughout all the land of Egypt. Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri,
30 Then seven years of famine will follow. All the plenty in Egypt will be forgotten, and famine will devour the land. naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi.
31 The abundance will be forgotten in the land, since the famine afterward will be so severe. Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna.
32 Pharaoh's dream repeated twice means our Father has firmly fixed this matter, and our Father will soon carry it out. Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu.
33 So let Pharaoh find a discerning, wise man and put him over Egypt's land. Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri.
34 Let Pharaoh take action and appoint overseers over the land, and take a fifth of Egypt's produce during the seven years of abundance. Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera.
35 Let them gather all the food of these good coming years, and store grain under Pharaoh's hand as food in the cities, and guard it. Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume.
36 That food will be a reserve for the land during the seven years of famine coming on the land of Egypt, so the land won't be cut off by famine." Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
37 The plan seemed good to Pharaoh and to all his servants. Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna.
38 Pharaoh said to his servants, "Can we find anyone like this, a man with God's Spirit in him?" Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?”
39 Pharaoh said to Joseph, "Since God has shown you all this, none is as discerning and wise as you. Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe.
40 You will be over my house; all my people will obey your command. Only in the throne will I be greater than you." Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.”
41 And Pharaoh said to Joseph, "See, I have set you over all the land of Egypt." Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.”
42 Pharaoh took the signet ring from his hand and put it on Joseph's hand, dressed him in fine linen, and put a gold chain on his neck. Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
43 Pharaoh had Joseph ride in his own second chariot, had men call out before Joseph, "Kneel!" and set him over all Egypt's land. N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.
44 Pharaoh said to Joseph, "I am Pharaoh; without you, no one moves hand or foot in all the land of Egypt." Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.”
45 Pharaoh named Joseph Zaphenath-paneah and gave him Asenath, daughter of Potiphera, priest of On, as wife. Then Joseph went out over the land of Egypt. Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.
46 Joseph was thirty when he stood before Pharaoh king of Egypt. He left Pharaoh's presence and traveled through all the land of Egypt. Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna.
47 During the seven years of abundance, the land produced bountifully. Mu myaka omusanvu egy’ekyengera emmere yabala n’ekamala.
48 He collected all the food of the seven years in Egypt and stored it in the cities, in each city the food of the fields around it. Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde.
49 Joseph stored grain like the sand of the sea—so much he stopped counting; it was uncountable. Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
50 Before the famine years, Joseph fathered two sons with Asenath, daughter of Potiphera, priest of On. Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
51 Joseph named the firstborn Manasseh: "Because our Father made me forget all my hardship and all my father's house." Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.”
52 He named the second Ephraim: "For our Father has made me fruitful in the land of my suffering." Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”
53 The seven years of abundance in the land of Egypt came to an end. Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyali mu nsi y’e Misiri ne giggwaako.
54 The seven years of famine began, just as Joseph had said. Famine struck every land, but in all the land of Egypt there was bread. Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri.
55 When famine struck all Egypt, the people cried to Pharaoh for bread. Pharaoh told all the Egyptians, "Go to Joseph; do whatever he tells you." Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”
56 As the famine spread across the land, Joseph opened all the storehouses and sold grain to the Egyptians, since the famine was severe in Egypt. Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere.
57 All the earth came to Egypt to buy grain from Joseph, for the famine gripped all the earth. Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]