Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 42 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Jacob saw grain was in Egypt, Jacob said to his sons, "Why do you stare at each other?" Yakobo bwe yategeera nga mu Misiri eriyo emmere, n’agamba batabani be nti, “Lwaki mutunula butunuzi?
2 He said, "Look, I've heard there's grain in Egypt. Go down and buy some for us from there, so we live and don't die." Mpulidde nti mu Misiri eriyo emmere, muserengete mutugulireyo emmere, tube balamu, tuleme okufa.”
3 So ten of Joseph's brothers went down to buy grain from Egypt. Awo baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta e Misiri okugula emmere.
4 But Jacob would not send Joseph's brother Benjamin with them, fearing harm might come to him. Kyokka Yakobo n’atasindika Benyamini, muto wa Yusufu wamu ne baganda be kubanga yatya nti akabi kayinza okumutuukako.
5 Israel's sons came to buy grain among the others who came, since famine was in the land of Canaan. Bwe batyo batabani ba Isirayiri ne bajja mu Misiri wamu n’abalala abajja okugula emmere, kubanga ensi ya Kanani yali ejjudde enjala.
6 Joseph was ruler over the land, selling grain to all its people. Joseph's brothers came and bowed to him, faces to the ground. Mu kiseera ekyo Yusufu ye yali afuga Misiri; nga y’aguza abantu emmere. Awo baganda be ne bajja ne bamuvuunamira.
7 Joseph saw and recognized his brothers, but acted like a stranger and spoke harshly: "Where are you from?" "From Canaan," they said, "to buy food." Yusufu n’abalaba n’abategeera, wabula n’abayisa nga b’atamanyi n’ayogera nabo n’obukambwe. N’ababuuza nti, “Muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva mu nsi ya Kanani, tuzze kugula mmere.”
8 Joseph recognized his brothers, but they did not recognize him. Bw’atyo Yusufu n’ategeera baganda be kyokka bo ne batamutegeera.
9 Then Joseph remembered the dreams he'd dreamed about them and said to them, "You are spies! You have come to see the land's vulnerable parts." Awo Yusufu n’ajjukira ebirooto bye ku bo. N’abagamba nti, “Muli bakessi; muzze kuketta nsi yaffe mulabe bw’eri ennafu.”
10 But they said to him, "No, my lord, your servants have come to buy food. Ne bamuddamu nti, “Nedda mukama waffe; abaddu bo tuzze kugula mmere.
11 We are all sons of one man; we are honest men. Your servants have never been spies." Ffenna tuli batabani ba musajja omu, tuli basajja ba mazima. Abaddu bo tetuli bakessi.”
12 But he said to them, "No, you have come to find the vulnerable parts of the land." Ye n’abaddamu nti, “Nedda muzze kulaba obunafu bw’ensi yaffe bwe buli.”
13 They said, "Your servants are twelve brothers, sons of one man in the land of Canaan. The youngest is with our father today, and one is gone." Ne bamuddamu nti, “Abaddu bo tuli kkumi na babiri, tuli baana ba muntu omu mu nsi ya Kanani, laba muto waffe n’olwa leero ali ne kitaffe, n’omulala yafa.”
14 Joseph said to them, "It is just as I said to you: you are spies. Naye Yusufu n’alumiriza nti, “Kiri nga bwe mbagambye, muli bakessi.
15 By this you will be tested: as Pharaoh lives, you won't leave here unless your youngest brother comes. Nzija kubategeerera ku kino, ndayidde obulamu bwa Falaawo temujja kuva wano, okuggyako nga muto wammwe aleeteddwa wano.
16 Send one of you to bring your brother while the rest of you stay confined, so your words can be tested, whether there is truth in you. If not, as Pharaoh lives, surely you are spies." Mutume omu ku mmwe, aleete muganda wammwe, mwe mubeere mu kkomera, ebigambo byammwe byetegerezebwe obanga ddala bye mwogedde bya mazima. Oba si ekyo ndayidde obulamu bwa Falaawo, muli bakessi.”
17 And he put them all together in custody for three days. Awo n’abateeka bonna mu kkomera okumala ennaku ssatu.
18 On the third day Joseph said to them, "Do this and live, for I fear our Father. Ku lunaku olwokusatu Yusufu n’abagamba nti, “Mukole bwe muti okuwonya obulamu bwammwe, kubanga ntya Katonda;
19 If you are honest, let one of your brothers stay here in custody, while the rest go, bringing grain for your households' famine. obanga ddala muli basajja b’amazima, omu ku baganda bammwe asigale ng’asibiddwa mu kkomera, abalala mugende mutwalire abantu bammwe emmere,
20 Bring your youngest brother to me, so your words are confirmed and you won't die." And they did so. mundeetere muto wammwe, olwo ebigambo byammwe bikakasibwe muleme okufa.” Awo ne bakola bwe batyo.
21 Then they said to each other, "Truly we are guilty over our brother, for we saw his soul's distress when he begged us and we wouldn't listen. That's why this distress has come on us." Awo ne bagambagana nti, “Ddala tuliko omusango gwa muganda waffe, kubanga twalaba nga mweraliikirivu, bwe yatwegayirira ne tutamuwuliriza; akabi kano kyekavudde katutuukako.”
22 Reuben answered them, "Didn't I tell you not to sin against the boy? You wouldn't listen. Now his blood is required." Lewubeeni kwe kubaddamu nti, “Nnabagamba muleme kukola kabi ku mulenzi, nga mmwe temumpuliriza; kale omusaayi gwe kyeguva gutuwalanwako.”
23 They did not know that Joseph understood them, for there was an interpreter between them. Ne batamanya nti Yusufu ategedde bye boogedde, kubanga bayogeranga naye nga bayita mu mutaputa.
24 He turned away from them and wept, then returned and spoke with them. He took Simeon from them and bound him before their eyes. Awo Yusufu n’atunula ebbali n’akaaba, ate n’akyuka gye bali n’ayogera nabo. Awo n’atwala Simyoni n’amusiba nga balaba.
25 Joseph ordered their bags filled with grain, each man's silver returned to his sack, and provisions given for the journey. So it was done for them. N’alagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋaano, era bazze ensimbi za buli omu mu nsawo ye, baweebwe n’entanda; ne bibakolerwa.
26 Then they loaded their grain on their donkeys and departed from there. Awo ne batikka endogoyi zaabwe eŋŋaano ne bagenda.
27 At the lodging place, one opened his sack to feed his donkey and saw his silver there in the sack's mouth. Naye omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye nga bali mu kifo mwe baasula, n’alaba ensimbi ze ku mumwa gw’ensawo;
28 He said to his brothers, "My silver was returned—look, it's in my sack!" Their hearts sank; trembling, they said to each other, "What has our Father done to us?" n’agamba baganda be nti, “Ensimbi zange baazinzirizza, ziizino mu kamwa k’ensawo yange!” Ekyo ne kibeeralikiriza, buli omu n’atandika okutya, nga bwe bagamba nti, “Kiki kino Katonda ky’atukoze!”
29 They came to Jacob their father in the land of Canaan and told him everything that had happened to them: Bwe baakomawo mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe ne bamutegeeza byonna ebyababaako, nga bagamba nti,
30 "The man, lord of the land, spoke harshly to us and treated us as spies of the land. “Omusajja omufuzi w’ensi y’e Misiri yayogera naffe n’obukambwe era n’atuyisa nga abaali bagenze okuketta ensi ye.
31 But we said to him, 'We are honest men; we are never spies. Naye ne tumugamba nti, Tuli basajja b’amazima, tetuli bakessi,
32 We are twelve brothers, sons of our father. One is gone; the youngest is now with our father in the land of Canaan.' tuli abooluganda kumi na babiri, baana ba muntu omu, munnaffe yafa, ne muto waffe olwa leero ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.
33 The man, lord of the land, told us, 'This is how I'll know you're honest: leave one brother with me, take grain against your households' famine, and go.' “Awo omusajja oyo omufuzi w’ensi n’atugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw’enjala eri mu maka gammwe.
34 Bring me your youngest brother, and I'll know you're not spies but honest men. I'll give your brother back, and you may trade in the land." Mundeetere muto wammwe, kwe nnaategeerera nga temuli bakessi, muli basajja b’amazima, olwo ne ndyoka mbawa muganda wammwe, mulyoke mugule emmere mu nsi eno.’ ”
35 As they emptied their sacks, each found his silver bundle in his sack. Seeing their silver bundles, they and their father were afraid. Bwe baatuuka eka, buli eyafukumulanga ensawo ye, laba ng’omuvumbo gw’ensimbi ze mweziri. Awo bo ne kitaabwe bwe baalaba emivumbo gy’ensimbi ne batya.
36 Their father Jacob said to them, "You've left me childless: Joseph is gone, Simeon is gone, and now you'd take Benjamin. It's all against me!" Yakobo kitaabwe n’abagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”
37 Reuben said to his father, "You may kill my two sons if I don't bring him back to you. Put him in my hands, and I will bring him back to you." Awo Lewubeeni n’agamba kitaawe nti, “Ottanga batabani bange bombi, bwe sirikomyawo Benyamini gy’oli; mumpe, nange ndimukomyawo gy’oli.”
38 He said, "My son will not go down with you, for his brother is dead, and he alone remains. Should harm meet him on the journey you're taking, you would carry my gray head down to the grave in grief." Naye Yakobo n’agamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye y’asigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]