Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 40 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After these things, the king of Egypt's cupbearer and baker sinned against their lord, the king of Egypt. Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri.
2 Pharaoh was furious with his two officials, the chief cupbearer and the chief baker. Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi,
3 He put them in custody in the guard captain's house, the prison where Joseph was held. n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali.
4 The captain of the guard assigned Joseph to serve them; they remained in custody for some days. Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.
5 Then both of them, the cupbearer and baker of Egypt's king, imprisoned in the prison, each dreamed a dream in one night, each dream with its own meaning. Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo.
6 When Joseph came to them in the morning, he saw that they were troubled. Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu.
7 He asked Pharaoh's officials with him in custody in his master's house, "Why do you look downcast today?" N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”
8 They told him, "We each had a dream, with no one to interpret it." Joseph replied, "Don't interpretations belong to our Father? Please tell them to me." Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”
9 The chief cupbearer told Joseph his dream: "In my dream a vine stood before me. Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto.
10 The vine had three branches; as it sprouted, its blossoms opened, and the clusters ripened into grapes. Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu.
11 Pharaoh's cup was in my hand; I took the grapes, squeezed them into Pharaoh's cup, and put the cup in Pharaoh's hand." Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”
12 Then Joseph said to him, "This is its interpretation: the three branches are three days. Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu;
13 In three days Pharaoh will lift up your head, restore you to your position, and you will put Pharaoh's cup in his hand, as before, when you were his cupbearer. mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we.
14 But remember me when it's well with you; please do me kindness—mention me to Pharaoh, so he may bring me out of this house. Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera.
15 For I was indeed kidnapped from the land of the Hebrews, and even here I've done nothing to deserve this dungeon." Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”
16 Seeing the interpretation was good, the chief baker said to Joseph, "I too had a dream: three baskets of white bread on my head. Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu.
17 The top basket held all kinds of baked goods for Pharaoh, but birds were eating them from the basket on my head." Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”
18 Joseph replied, "This is its interpretation: the three baskets are three days. Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu;
19 In three days Pharaoh will lift your head off you and hang you on a tree—birds will eat the flesh off you. bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.”
20 On the third day, Pharaoh's birthday, he gave a feast for all his officials, and lifted the head of his chief cupbearer and the head of his chief baker among them," Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi.
21 restoring the chief cupbearer to his position, so he placed the cup in Pharaoh's hand. Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo,
22 But he hanged the chief baker, just as Joseph had interpreted to them. kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.
23 Yet the chief cupbearer did not remember Joseph—he forgot him. Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]