Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 39 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Joseph was brought down to Egypt; Potiphar, Pharaoh's Egyptian official and captain of the guard, bought him from the Ishmaelites who had brought him down there. Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.
2 Our Father was with Joseph; he thrived, serving in his Egyptian master's house. Mukama n’aba ne Yusufu n’aba n’omukisa ng’ali mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.
3 His master saw our Father was with him, our Father making all he did succeed in his hand. Ne mukama we n’alaba nga Mukama amuwadde omukisa mu buli ky’akola.
4 Joseph found favor with him and served him; his master put Joseph over his house, entrusting him with all he owned. Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina.
5 From when he put Joseph over his house and all he owned, our Father blessed the Egyptian's house for Joseph's sake; our Father's blessing was on all he had, house and field. Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro.
6 Potiphar left all he owned in Joseph's care, aware of nothing except what he ate. Joseph was well-built and handsome. Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga. Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu.
7 After these things, his master's wife cast her eyes on Joseph and said, "Sleep with me." Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.”
8 He refused, telling his master's wife, "Look, with me here, my master oversees nothing in the house; all he owns he has put in my hands. Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange,
9 He is no greater in this house than I am; he's held back nothing from me except you, since you are his wife. How could I do this great evil and sin against our Father?" era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?”
10 Day after day she spoke to Joseph, but he refused to listen to her, to lie beside her, to be with her. Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.
11 One day Joseph entered the house to do his work, with no household man inside. Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba,
12 She caught him by his garment, saying, "Sleep with me!" He left it in her hand and fled outside. muka mukama we n’akwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’agamba nti, “Weegatte nange.” Yusufu n’amwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo z’omukazi wa mukama we. Ye n’adduka n’ava mu nnyumba.
13 When she saw that he had left his garment in her hand and fled outside, Naye omukazi bwe yalaba ng’asigazza ekyambalo kya Yusufu,
14 she called the men of her household and said, "Look—he brought us a Hebrew man to mock us. He came in to me to sleep with me, and I screamed loudly. n’ayita abasajja ab’omu nnyumba ye n’abagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange,
15 When he heard me cry out, he left his garment beside me and fled outside. bw’awulidde nga ndeekaana n’adduka n’ava mu nnyumba.”
16 She kept his garment beside her until his master came home." Awo kwe kutereka ekyambalo okutuusa mukama wa Yusufu lwe yadda eka.
17 She told him the same story: "The Hebrew servant you brought us came to me to mock me. Omukyala n’abuulira bba byonna ng’agamba nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingidde gye ndi okunjooga.
18 But when I cried out, he left his garment beside me and fled outside." Naye nabadde nakaleekaana, n’aleka ekyambalo kye gye ndi, n’adduka n’ava mu nnyumba.”
19 When his master heard his wife's words to him—"Your servant did these things to me"—his anger flared. Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka.
20 Joseph's master took him and put him in the prison holding the king's prisoners. He stayed there in the prison. Mukama wa Yusufu n’akwata Yusufu n’amuteeka mu kkomera omwasibirwanga abazzizza emisango eri kabaka.
21 But our Father was with Joseph, showing him covenant love and favor with the prison warden. Naye Mukama n’abeera ne Yusufu, n’amulaga okwagala kwe okutalojjeka. N’aganja nnyo mu maaso g’omukuumi w’ekkomera.
22 The prison warden put Joseph in charge of all its prisoners; whatever was done there, he did. Omukuumi w’ekkomera n’ateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu y’akirinako obuvunaanyizibwa.
23 The warden checked nothing in Joseph's care, since our Father was with him—whatever he did, our Father made succeed. Omukuumi w’ekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama n’amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]