Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 38 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time Judah left his brothers and went to a man from Adullam named Hirah. Awo olwatuuka Yuda n’ava ku baganda be n’aserengeta, n’ayingira ew’Omudulamu, erinnya lye, Kira.
2 There Judah saw the daughter of a Canaanite named Shua. He married and slept with her. Yuda n’alabayo muwala wa Suwa, Omukanani, n’amuwasa, ne yeetaba naye,
3 She became pregnant and gave birth to a son, and Judah named him Er. n’aba olubuto n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma erinnya Eri.
4 She became pregnant again and gave birth to a son, and she named him Onan. Mukyala wa Yuda n’aba olubuto olulala n’azaala omwana omulenzi n’amutuuma Onani.
5 She bore yet another son and named him Shelah; she was at Chezib when she bore him. Ate n’azaala omwana omulala n’amutuuma Seera. Yamuzaalira mu Kezibu.
6 Judah took a wife for his firstborn son Er; her name was Tamar. Era Yuda n’awasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali.
7 But Er, Judah's firstborn, was evil before our Father, and our Father put him to death. Naye Eri mutabani wa Yuda omukulu n’aba mwonoonyi mu maaso ga Mukama; Mukama n’amutta.
8 Then Judah told Onan, "Sleep with your brother's wife, do your duty as her brother-in-law, and raise children for your brother." Awo Yuda n’agamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.”
9 But Onan knew the child would not be his, so whenever he slept with his brother's wife, he spilled his seed on the ground, to give his brother no child. Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde.
10 What he did was evil in our Father's sight, so he put him to death too. Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama. N’ono Mukama kyeyava amutta.
11 Judah told his daughter-in-law Tamar, "Stay a widow in your father's house till my son Shelah grows up"—thinking, "He might die like his brothers." So Tamar lived in her father's house. Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.
12 Long afterward, Judah's wife, Shua's daughter, died. When Judah was comforted, he and his friend Hirah the Adullamite went up to his sheepshearers at Timnah. Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze.
13 Tamar was told, "Your father-in-law is going up to Timnah to shear his sheep." Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,”
14 So she removed her widow's clothes, covered herself with a veil, wrapped up, and sat at the entrance to Enaim on the road to Timnah—for she saw that Shelah had grown up but she was not given to him as his wife. n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa.
15 When Judah saw her, he thought she was a prostitute, because she had covered her face. Yuda bwe yamulaba, n’amulowooza okuba omu ku bamalaaya, kubanga yali abisse amaaso ge.
16 He turned to her by the road and said, "Let me sleep with you"—not knowing she was his daughter-in-law. She said, "What will you give me to sleep with you?" N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?”
17 He said, "I'll send you a young goat from the flock." She said, "Will you give me a pledge until you send it?" Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?”
18 He said, "What pledge should I give you?" She said, "Your seal, its cord, and the staff in your hand." He gave them to her, slept with her, and she conceived by him. Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto.
19 She got up and left, took off her veil, and put her widow's clothes back on. Tamali n’agolokoka n’agenda, n’aggyako ekiremba n’ayambala ebyambalo by’obwannamwandu bwe.
20 Judah sent the young goat by his friend the Adullamite to get the pledge back from the woman, but he couldn't find her. Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gw’embuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi.
21 He asked the local men, "Where's the shrine prostitute who was by the road at Enaim?" They said, "No shrine prostitute has been here." Bwe yabuuliriza ab’omu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali g’ekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.”
22 So he returned to Judah, saying, "I could not find her, and the local men said no shrine prostitute had been there." N’alyoka addayo eri Yuda n’amugamba nti takubikako kimunye; era n’abantu ab’ekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya.”
23 Then Judah said, "Let her keep them, or we'll be mocked. I sent her this young goat, but you didn't find her." Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu k’abisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye n’atalabikako.”
24 About three months later, Judah was told, "Your daughter-in-law Tamar has prostituted herself, and she's now pregnant from it." Judah said, "Bring her out and burn her!" Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.”
25 As she was brought out, she sent word to her father-in-law: "I am pregnant by the man these belong to. Please identify whose seal, cord, and staff these are." Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?”
26 Judah recognized them and said, "She is more righteous than I, since I didn't give her to my son Shelah." He never slept with her again. Awo Yuda n’abitegeera n’agamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda n’atamuddira.
27 When the time came for her to give birth, there were twins in her womb. Ekiseera eky’okuwona bwe kyatuuka n’alabika nga wakuzaala balongo.
28 As she gave birth, one put out a hand. The midwife tied a scarlet thread on it: "This one came out first." Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.”
29 As he drew back his hand, his brother came out, and she said, "What a breach you've made for yourself!" So the brother who came out was named Perez. Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.
30 Then his brother came out with the scarlet thread on his hand, and was named Zerah. Oluvannyuma muganda we n’afuluma n’akawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, n’ayitibwa Zeera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]