Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 37 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jacob settled in the land where his father had lived as a foreigner, the land of Canaan. Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga.
2 This is Jacob's family record. Joseph, a young man of seventeen, tended the flock with his brothers, the sons of Bilhah and Zilpah, his father's wives—and brought their father a bad report about them. Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo: Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.
3 Israel loved Joseph more than all his other sons, because he was born to him in his old age, and made him a robe of many colors. Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi.
4 When his brothers saw their father loved him more than all of them, they hated him and could not speak kindly to him. Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.
5 Joseph dreamed a dream and told it to his brothers, who hated him even more. Lumu Yusufu n’aloota ekirooto, n’agenda n’akitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa.
6 He said to them, "Listen to this dream I had: Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose.
7 Suddenly we were binding sheaves in the field, and suddenly my sheaf rose and stood upright, and suddenly your sheaves gathered around and bowed down to it." Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.”
8 His brothers said to him, "Will you really reign over us? Will you actually rule us?" So they hated him even more for his dreams and his words. Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye.
9 He dreamed again and told his brothers, "Look, I had another dream—the sun, moon, and eleven stars were bowing down to me." Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.”
10 When he told his father and brothers, his father scolded him: "What is this dream you had? Will I, your mother, and your brothers really come and bow to the ground before you?" Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?”
11 His brothers were jealous of him, but his father kept the matter in mind. Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.
12 Now his brothers had gone to graze their father's flocks near Shechem. Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe.
13 Israel said to Joseph, "Aren't your brothers grazing the flocks at Shechem? Come, I'll send you to them." "Here I am," he replied. Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.”
14 He said to him, "Go see how your brothers and the flock are doing, and bring me word." So he sent him from the Valley of Hebron, and Joseph came to Shechem. N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.
15 A man found him wandering in the fields and asked him, "What are you looking for?" Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?”
16 He replied, "I'm looking for my brothers. Can you tell me where they are grazing their flocks?" N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.”
17 "They've left here," the man said. "I heard them say, 'Let's go to Dothan.'" Joseph went after his brothers and found them at Dothan. Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani.
18 They saw him in the distance, and before he reached them, they plotted to kill him. Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.
19 "Here comes that dreamer!" they said to one another. Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja.
20 "Now come, let's kill him, throw him into one of the pits, and say a wild animal ate him. Then we'll see what becomes of his dreams." Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”
21 Reuben heard and tried to rescue him from their hands. "Let's not take his life," he said. Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta.
22 Reuben told them, "Shed no blood—throw him into this desert cistern, but don't touch him." Reuben said this to rescue Joseph from them and take him back to his father. Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.
23 When Joseph reached his brothers, they stripped off his robe—the robe of many colors he wore. Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde:
24 They took him and threw him into the cistern. The cistern was empty, no water in it. ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.
25 They sat to eat, looked up, and saw an Ishmaelite caravan coming from Gilead, their camels carrying spices, balm, and myrrh, headed down to Egypt. Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.
26 Judah told his brothers, "What do we gain if we kill our brother and hide his blood? Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe?
27 Come, let's sell him to the Ishmaelites, not harm him ourselves—he's our brother, our own flesh." His brothers agreed. Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.
28 As Midianite traders passed, his brothers lifted Joseph from the pit and sold him to the Ishmaelites for twenty silver pieces, and the Ishmaelites brought him to Egypt. Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri.
29 When Reuben returned to the cistern and saw that Joseph was not there, he tore his clothes. Lewubeeni bwe yadda n’alaga ku bunnya n’alaba nga Yusufu taliimu, n’ayuza engoye ze,
30 He went back to his brothers and said, "The boy is gone! Where can I turn now?" n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?”
31 Then they took Joseph's robe, slaughtered a goat, and dipped the robe in the blood. Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi.
32 They sent the robe of many colors and brought it to their father, saying, "We found this. Examine it: is it your son's robe, or not?" Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”
33 He recognized it: "My son's robe—a dangerous animal ate him! Joseph is surely torn apart." N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”
34 Then Jacob tore his clothes, put on mourning clothes, and mourned for his son many days. Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene.
35 All his sons and daughters came to comfort him, but he refused to be comforted, saying, "No, mourning I will go down to my son in the grave." So his father wept for him. Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.
36 Now the Midianites sold Joseph in Egypt to Potiphar, a Pharaoh official and captain of the guard. Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]