Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Adam slept with his wife Eve; she conceived and bore Cain, saying, "With our Father's help I have gained a man." Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.”
2 Later she gave birth to his brother Abel. Abel kept flocks, and Cain worked the ground. Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi. Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi.
3 After some time, Cain brought our Father an offering of the ground's fruit. Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama.
4 Abel, too, brought the firstborn of his flock and their fat portions. Our Father favored Abel and his offering, Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye.
5 but not on Cain and his offering, so Cain burned with anger and his face fell. Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
6 Then our Father said to Cain, "Why are you angry? Why has your face fallen? Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa?
7 If you do right, won't you be accepted? If you don't, sin crouches at your door, longing for you—but you must rule over it." Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
8 Cain said to his brother Abel, "Let's go to the field." There, Cain rose against his brother Abel and killed him. Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
9 Then our Father asked Cain, "Where's your brother Abel?" "I don't know," he said. "Am I my brother's keeper?" Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?” N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
10 Our Father said, "What have you done? The voice of your brother's blood cries out to me from the ground. Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira.
11 Now a curse drives you from the ground, which opened its mouth to take your brother's blood from your hand. Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse.
12 When you work the ground, it will no longer give you its strength; you will be a wandering fugitive on the earth." Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”
13 Cain said to our Father, "My punishment is more than I can bear. Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola.
14 Today you drive me from this ground; I'll be hidden from your presence, a restless fugitive on earth, and whoever finds me will kill me." Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”
15 But our Father told him, "No—whoever kills Cain will be avenged seven times over." Then our Father marked Cain, so no one who found him would kill him. Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo Mukama n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta.
16 Cain left the presence of our Father and settled in the land of Nod, east of Eden. Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.
17 Cain slept with his wife; she conceived and bore Enoch. He was building a city and named it after his son Enoch. Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka.
18 Irad was born to Enoch. Irad fathered Mehujael, Mehujael fathered Methushael, Methushael fathered Lamech. Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.
19 Lamech married two women, one named Adah and the other Zillah. Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira.
20 Adah bore Jabal, father of tent dwellers and livestock herders. Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda.
21 His brother's name was Jubal; he was the father of all who play the harp and flute. Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere.
22 Zillah also bore Tubal-Cain, forger of all bronze and iron tools; Tubal-Cain's sister was Naamah. Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.
23 Lamech told his wives: "Adah and Zillah, hear me; wives of Lamech, listen to what I say. I killed a man who wounded me, a young man who bruised me. Lameka n’agamba bakazi be nti, “Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange; mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba; nzise omusajja olw’okunfumita, nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 If Cain is avenged seven times, then Lamech seventy-seven times." Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu, mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
25 Adam slept with his wife again; she bore a son and named him Seth: "Our Father has given me another child instead of Abel, since Cain killed him." Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.”
26 Seth too had a son and named him Enosh. Then people began calling on our Father's name. Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi. Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]