Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 31 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jacob heard Laban's sons say, "Jacob took all our father had; from what was our father's he made this wealth." Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.”
2 And Jacob saw the face of Laban, and it was not toward him as before. Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.
3 Then our Father told Jacob, "Return to your fathers' land and family; I will be with you." Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.”
4 So Jacob sent and called Rachel and Leah to the field, to his flock. Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo.
5 He told them, "I see your father's face isn't toward me as before, but the God of my father remained with me. Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange.
6 You know that I have served your father with all my strength. Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna.
7 Your father cheated me, changing my wages ten times, but our Father wouldn't let him harm me. Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi.
8 If he said, 'Speckled is your wage,' the whole flock bore speckled; if he said, 'Striped is your wage,' the whole flock bore striped. Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’
9 So our Father has taken away your father's livestock and given it to me. Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.
10 I looked up in a dream during the flock's mating season and saw the male goats mounting them were streaked, speckled, and spotted. “Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo.
11 The messenger of the Father said to me in a dream, 'Jacob,' and I said, 'Here I am.' Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
12 He said, 'Look up and see: all the male goats mating with the flock are streaked, spotted, speckled—for I've seen all Laban is doing to you. N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze.
13 I am the Father of Bethel, where you anointed a pillar and vowed to me. Now get up, leave this land, and return to your kindred's land.'" Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”
14 Rachel and Leah answered, "Do we still have any share or inheritance in our father's house? Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe.
15 Doesn't he count us as foreigners? He sold us and has completely consumed our money too. Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa.
16 Everything our Father took from Laban is ours and our children's. Now do all our Father told you." Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”
17 So Jacob arose and set his sons and his wives on the camels. Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira;
18 He took all his livestock and all his property he had acquired, the livestock acquired in Paddan-aram, to go to Isaac his father in the land of Canaan. n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.
19 Laban went to shear his sheep, and Rachel stole her father's household gods. Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani.
20 And Jacob deceived Laban the Aramean by not telling him that he was fleeing. Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende.
21 He fled with all he had, rose, crossed the Euphrates, and set his face toward Gilead's hill country. Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.
22 On the third day Laban was told that Jacob had fled. Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako,
23 He took his relatives, chased him seven days, and caught him in Gilead's hill country. Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi.
24 But our Father came to Laban the Aramean in a night dream and said, "Guard against speaking with Jacob, good or bad." Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”
25 Laban caught Jacob, who had pitched his tent in the hills; Laban and his relatives pitched against him in Gilead's hills. Awo Labbaani n’atuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi ey’ensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi ey’ensozi eya Giriyaadi.
26 Laban said to Jacob, "What have you done? You tricked me and drove my daughters like war captives. Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage?
27 Why sneak off and deceive me, not telling me? I'd have sent you off with joy, songs, tambourine, lyre. Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga.
28 Why didn't you let me kiss my sons and daughters goodbye? Now you've acted foolishly. Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu.
29 I have power to harm you, but your father's God told me last night: 'Watch yourself—say nothing to Jacob, good or bad.' Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’
30 Now you've truly gone because you longed greatly for your father's house—so why steal my gods?" Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”
31 Jacob answered Laban, "I was afraid, for I thought you'd seize your daughters from me. Yakobo n’addamu Labbaani nti, “Natya, kubanga n’alowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo.
32 Whoever you find with your gods dies. Point out what's yours before our relatives, take it." Jacob didn't know Rachel had stolen them. Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.
33 Laban searched Jacob's tent, Leah's tent, and the two servants' tent, found nothing, left Leah's, and entered Rachel's tent. Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri.
34 Rachel had taken the household idols, put them in the camel's saddle, and sat on them. Laban searched the whole tent but found nothing. Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.
35 She told her father, "Don't be angry, my lord—I can't rise for you; I'm on my period." He searched but never found the household gods. Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be.
36 Jacob got angry and quarreled with Laban. Jacob answered Laban, "What's my crime? What's my sin, that you've chased me down? Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo?
37 You've searched all my goods—what did you find from your household? Put it here before my relatives and yours; let them decide between us both. Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.
38 Twenty years I've been with you: your ewes and female goats haven't miscarried, and I haven't eaten rams from your flock. “Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo.
39 Torn animals I never brought to you; I bore the loss myself. You demanded it from my hand, stolen by day, stolen by night. Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe ey’omu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze.
40 There I was: by day heat consumed me, and cold by night, and sleep fled from my eyes. Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, n’okubeeranga mu mpewo ekiro, n’otulo ne tumbula.
41 Twenty years in your house—fourteen serving for your two daughters, six for your flock—and you changed my wages ten times. Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi.
42 Had the God of my father, the God of Abraham, and the Fear of Isaac not been with me, you'd surely have sent me away empty-handed now. Our Father saw my suffering and my hands' labor, and warned you last night." Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”
43 Laban answered Jacob, "The daughters are mine, the children are mine, the flocks are mine—everything you see is mine. But what can I do today for my daughters, or for the children they bore? Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero?
44 Come, let's make a covenant, you and I; let it be a witness between you and me." Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.”
45 So Jacob took a stone and set it up as a pillar. Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi.
46 Jacob told his kin, "Gather stones." They took stones, piled a heap, and ate there by the heap. N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira awo awali entuumo.
47 Laban called it Jegar-sahadutha, but Jacob called it Galeed. Labbaani entuumu n’agiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo n’agiyita Galeedi.
48 Laban said, "This heap is a witness between you and me today." Therefore he named it Galeed, Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi,
49 and Mizpah, for he said, "God watch between me and you when we're apart. n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne.
50 If you mistreat my daughters or take wives besides them, though no one else is here, God witnesses between you and me." Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51 Laban said to Jacob, "Look at this heap and this pillar I've set between you and me. Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno n’empagi bye ntadde wakati wo nange.
52 This mound witnesses, this pillar witnesses: I won't cross this mound to you, and you won't cross this mound and pillar to me, for harm. Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi.
53 God of Abraham and God of Nahor, the God of their father, judge between us." So Jacob swore by the Fear of his father Isaac. Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe atulamule.” Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka.
54 Jacob sacrificed on the mountain, called his relatives to eat bread; they ate bread and spent the night on the mountain. Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.
55 Laban rose early, kissed his grandchildren and daughters, blessed them, left, and returned home. Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]