Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 30 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Rachel saw that she bore Jacob no children, Rachel envied her sister. She said to Jacob, "Give me children, or I will die!" Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”
2 Jacob was furious with Rachel. He said, "Am I in our Father's place, who has withheld from you the fruit of the womb?" Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”
3 She said, "Here is my servant Bilhah. Go in to her, that she may bear children for me, and through her I too may build a family." Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.”
4 So she gave him Bilhah her servant as a wife, and Jacob was intimate with her. N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye.
5 Bilhah conceived and bore Jacob a son. Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.
6 Then Rachel said, "Our Father has judged me; he has also heard my voice and given me a son." Therefore she named him Dan. Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani.
7 Bilhah, Rachel's servant, conceived again and bore Jacob a second son. Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri.
8 Rachel said, "I have wrestled fiercely with my sister, and I have won." So she named him Naphtali. Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.
9 When Leah saw that she had stopped bearing children, she took Zilpah her servant and gave her to Jacob as a wife. Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we.
10 Then Leah's servant Zilpah bore Jacob a son. Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi;
11 Leah said, "Good fortune!" So she named him Gad. Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.
12 Leah's servant Zilpah bore Jacob a second son. Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri.
13 Leah said, "How happy I am! For women will call me happy." So she named him Asher. Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.
14 In the days of wheat harvest Reuben went out and found mandrakes in the field and brought them to his mother Leah. Then Rachel said to Leah, "Please give me some of your son's mandrakes." Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu, n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.”
15 But Leah replied, "Wasn't it enough to take my husband? Now you'd take my son's mandrakes too?" Rachel said, "Fine—he can sleep with you tonight for your son's mandrakes." Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”
16 When Jacob came from the field in the evening, Leah went out to meet him and said, "You must sleep with me, for I have indeed hired you with my son's mandrakes." So he was intimate with her that night. Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.
17 And our Father listened to Leah, and she conceived and bore Jacob a fifth son. Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano.
18 Leah said, "Our Father has given me my wages because I gave my servant to my husband." So she named him Issachar. Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.
19 Leah conceived again and bore Jacob a sixth son. Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga.
20 Then Leah said, "Our Father has endowed me with a good gift. Now my husband will honor me, because I have borne him six sons." So she named him Zebulun. Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.
21 Afterward she bore a daughter and named her Dinah. Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina.
22 Then our Father remembered Rachel; he listened to her and opened her womb. Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe.
23 She conceived and bore a son, and said, "Our Father has taken away my disgrace." N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;”
24 She named him Joseph, saying, "May our Father add to me another son." n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”
25 As soon as Rachel had borne Joseph, Jacob said to Laban, "Let me go back to my own home and country. Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe.
26 Give me my wives and my children for whom I have served you, and let me go. You know the service I have given you." Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”
27 But Laban said to him, "If I have found favor in your eyes—I have learned by divination that God has blessed me because of you." Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo.
28 He said, "Name your wages, and I will give it." Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.”
29 Jacob said to him, "You yourself know how I have served you, and how well your livestock has done under my care. Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza.
30 For you had little before I came, and it has increased greatly; our Father has blessed you wherever I turned. But now, when will I provide for my own household also?" Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”
31 He asked, "What should I give you?" Jacob replied, "Give me nothing. If you'll do this one thing for me, I'll go back to grazing and guarding your flock. Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo:
32 Let me pass through all your flock today, removing from it every speckled and spotted sheep and every black lamb, and the spotted and speckled among the goats, and that will be my wages. nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange.
33 So my honesty will testify for me later, when you come to look into my wages. Every one that is not speckled and spotted among the goats and black among the lambs, if found with me, will be counted stolen." Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”
34 Laban said, "Good! Let it be as you have said." Labbaani n’amuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bw’ogambye.”
35 That day Laban removed the striped and spotted male goats, all the speckled and spotted female goats—each with white on it—and every dark lamb, handing them to his sons. Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde;
36 He set a distance of three days' journey between himself and Jacob, and Jacob pastured the rest of Laban's flock. nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye n’alunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.
37 Then Jacob took fresh branches from poplar, almond, and plane trees, and peeled white streaks in them, exposing the white of the wood. Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo.
38 He placed the peeled branches in the watering troughs in front of the flocks—the places where they came to drink. And since they bred when they came to drink, N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga.
39 the flocks bred in front of the sticks and so brought forth striped, speckled, and spotted young. Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga.
40 Jacob separated the lambs and turned the flock to face the striped animals and all the black ones in Laban's flock. He kept his own flocks apart and did not mix them with Laban's flock. Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani.
41 Whenever the stronger animals were breeding, Jacob would place the branches in the troughs in sight of the flock, so they would breed among the branches, Buli nsolo enkazi ez’amaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku by’esero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo.
42 but for the weaker animals he would not lay them there. So the weaker animals went to Laban, and the stronger ones to Jacob. Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo.
43 So the man became exceedingly rich and had large flocks, female servants and male servants, and camels and donkeys. Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]