Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 29 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Jacob continued on his journey and came to the land of the eastern peoples. Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba.
2 He saw a well in the field, with three flocks lying beside it, since that well watered the flocks, and a large stone lay over its mouth. Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene,
3 There all the flocks would gather; shepherds rolled the stone off the well's mouth, watered the sheep, then returned the stone to its place over the well's mouth. era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.
4 Jacob said to them, "My brothers, where are you from?" "We are from Haran," they replied. Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”
5 He asked them, "Do you know Laban, the son of Nahor?" "We know him," they answered. Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6 Then he asked, "Is he well?" "He is well," they said. "Look—his daughter Rachel comes with the sheep." N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”
7 "Look," Jacob said, "the day is still high, too soon to gather the herds. Water the sheep, then go graze them." N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”
8 "We can't," they said, "until all the flocks gather and the stone is rolled off the well's mouth. Then we'll water the sheep." Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”
9 While Jacob was still speaking with them, Rachel came with her father's flock, for she tended it. Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda.
10 When Jacob saw Rachel, daughter of Laban his mother's brother, and sheep of Laban his mother's brother, he approached, rolled the stone from the well's mouth, and watered the sheep of Laban his mother's brother. Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani.
11 Then Jacob kissed Rachel and wept aloud. Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
12 Jacob told Rachel he was her father's relative, Rebekah's son. She ran and told her father. Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.
13 As soon as Laban heard the news about Jacob his sister's son, he ran to meet him, hugged and kissed him, and brought him home. Jacob told Laban everything that had happened. Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo.
14 Laban said to him, "You are indeed my bone and flesh." So Jacob stayed with him a full month. Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.”
15 Laban said to Jacob, "Should you serve me for free just because you're my relative? Tell me—what should your wages be?" Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”
16 Now Laban had two daughters. The older was named Leah, and the younger was named Rachel. Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri.
17 Leah's eyes were dull, but Rachel was lovely in form and beautiful to look at. Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi.
18 Jacob loved Rachel and said, "I'll serve you seven years for your younger daughter Rachel." Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”
19 Laban said, "Better that I give her to you than to another man. Stay here with me." Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.”
20 Jacob served seven years for Rachel; they felt like only a few days because he loved her. Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.
21 Jacob said to Laban, "Give me my wife—my time is complete—so I can go in to her." Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”
22 So Laban gathered together all the men of the place and made a feast. Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga.
23 That evening he brought his daughter Leah to Jacob, and he was intimate with her. Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.
24 And Laban gave his servant Zilpah to his daughter Leah as her servant. Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.
25 In the morning—it was Leah! Jacob said to Laban, "What have you done to me? Didn't I serve you for Rachel? Why did you deceive me?" Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?”
26 Laban replied, "It's not the custom here to give the younger before the firstborn. Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa.
27 Finish this one's bridal week, then we'll give you the other too—for another seven years of work." Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”
28 Jacob did this, completed her week, and Laban gave him his daughter Rachel as his wife. Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we.
29 And Laban gave his servant Bilhah to his daughter Rachel as her servant. Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga.
30 Jacob slept with Rachel too, and loved her more than Leah. He served Laban seven more years. Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.
31 When our Father saw that Leah was unloved, he opened her womb; but Rachel was barren. Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba.
32 Leah conceived and bore a son, and named him Reuben, for she said, "Our Father has seen my suffering; surely now my husband will love me." Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
33 She conceived again, bore a son, and said, "Because our Father heard I was unloved, he gave me this one too." So she named him Simeon. N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.”
34 She conceived again and bore a son, and said, "This time my husband will be joined to me, since I have borne him three sons." So he was named Levi. Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
35 She conceived again and bore a son, and said, "This time I will praise our Father." So she named him Judah. Then she stopped bearing children. Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]