Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Isaac called Jacob, blessed him, and commanded him: "Take no wife from Canaan's daughters. Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani.
2 Go to Paddan-aram, to Bethuel's house, your mother's father, and take a wife there from Laban's daughters, your mother's brother. Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.
3 May El Shaddai—your Father Almighty—bless you, make you fruitful, multiply you, so you become a company of peoples. Katonda Ayinzabyonna akuwe omukisa, akwaze, weeyongere, era obeerenga n’abantu ab’enjawulo bangi.
4 May he give you and your offspring with you the blessing of Abraham, that you may inherit the land where you live as a foreigner, which our Father gave to Abraham." Akuwe emikisa gya Ibulayimu, era agiwe n’ezzadde lyo, olyoke ofune ensi mw’otambulira, Katonda gye yawa Ibulayimu.”
5 Isaac sent Jacob away; he went to Paddan-aram, to Laban son of Bethuel the Aramean, brother of Rebekah, mother of Jacob and Esau. Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.
6 Esau discovered that Isaac had blessed Jacob and sent him to Paddan-aram to take a wife from there, charging him as he blessed him, "Do not take a wife from Canaanite women," Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,”
7 and that Jacob had obeyed his father and his mother and had gone to Paddan-aram. era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu.
8 So Esau saw that the daughters of Canaan were displeasing to his father Isaac. Awo n’ategeera nti abakazi Abakanani tebaasanyusa kitaawe Isaaka.
9 So Esau went to Ishmael and took Mahalath, daughter of Ishmael son of Abraham and sister of Nebaioth, as a wife besides his other wives. Esawu n’agenda eri Isimayiri n’awasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, n’amwongera ku bakazi be yalina.
10 Jacob left Beersheba and set out toward Haran. Awo Yakobo n’ava e Beeruseba n’ayolekera Kalani. N’atuuka mu kifo ekimu, n’asula awo ekiro ekyo, kubanga obudde bwali buzibye.
11 He reached a place and stayed the night, for the sun set. He took one of the stones of the place, put it under his head, and lay down in that place to sleep. N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, n’alyezizika ne yeebaka.
12 He dreamed: there was a stairway set up on the earth, its top reaching heaven, and there were angels of our Father ascending and descending on it. N’aloota ng’alaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako,
13 And there above it stood our Father, who said, "I am your Father, the God of Abraham your father and of Isaac. I'll give you and your offspring the land you're lying on. era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama n’agamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kw’ogalamidde ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo.
14 Your offspring will be like the dust of the earth; you will spread west, east, north, and south. In you and in your offspring, all the families of the earth will be blessed. Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa.
15 Know this: I'm with you. I'll guard you wherever you go and bring you back to this land. I won't leave you until I've done what I promised you." Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”
16 Jacob awoke from his sleep and said, "Surely our Father is in this place, and I didn't know!" Awo Yakobo n’ava mu tulo n’agamba nti, “Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi.”
17 He was afraid and said, "How awesome is this place! This is none other than the house of our Father, and this is heaven's gate." N’atya nnyo, n’agamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu.”
18 Jacob got up early, took the stone he'd put under his head, set it up as a pillar, and poured oil on top of it. Awo Yakobo n’agolokoka ku makya, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba empagi n’ayiwa amafuta ku mutwe gwalyo.
19 He named that place Bethel, though Luz had been the city's previous name. Ekifo ekyo n’akituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.
20 Jacob vowed, "If God is with me and guards me on this journey I'm taking, gives me bread to eat and clothing to wear, Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange,
21 and I return safely to my father's house, then our Father will be my Father, olwo Mukama n’aba Katonda wange.
22 and this stone I've set up as a pillar will be the house of our Father, and of all you give me, I will surely bring you a tenth." Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era n’ebyo byonna by’ompa ndikuwaako ekimu eky’ekkumi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]