Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 32 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jacob went on his way, and the angels of our Father met him. Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
2 Jacob saw them and said, "This is our Father's camp!" He named that place Mahanaim. Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu.
3 Jacob sent messengers ahead of him to Esau his brother in the land of Seir, the territory of Edom. Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri mu nsi ya Edomu.
4 He ordered them, "Tell my lord Esau: your servant Jacob says, I've lived with Laban and stayed until now. N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano,
5 I own oxen, donkeys, flocks, and servants—male and female. I've sent to inform my lord, to find favor in your eyes." alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”
6 The messengers returned to Jacob: "We went to your brother Esau—he's coming to meet you, 400 men with him." Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.”
7 Jacob was very afraid and distressed. He split the people with him, and the flocks, herds, and camels, into two camps, Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri,
8 thinking, "If Esau reaches one camp and attacks it, the remaining camp will escape." ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”
9 Then Jacob said, "God of my father Abraham and God of my father Isaac, my Father, who said to me, 'Return to your land and family, so I may treat you well,' Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’
10 I am too small for the least of all the covenant love and faithfulness you have shown your servant, for I crossed this Jordan with only my staff, and now I have become two camps. sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri.
11 Rescue me, please, from my brother's hand, from Esau's hand—I fear him: he may come and strike me down, mothers with children. Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana.
12 But you said, 'I will surely be good to you and make your descendants like the sand of the sea, too many to count.'" Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”
13 He stayed there that night, then took a gift for his brother Esau from what he had: N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina:
14 200 female goats and twenty male goats, 200 ewes and twenty rams, embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri,
15 thirty nursing camels with their young, forty cows, ten bulls, twenty female donkeys, ten male donkeys. eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi.
16 He gave them to his servants, drove by drove, separately, and told his servants, "Pass ahead of me, and leave space between drove and drove." N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”
17 He ordered the first, "When Esau my brother meets you and asks you, 'Whose are you? Where are you going? Whose are these ahead of you?' N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’
18 then say, 'They're your servant Jacob's, a gift sent to my lord Esau. Look, he himself is behind us.'" N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ”
19 He also commanded the second, the third, and all who followed the herds, "Say the same to Esau when you find him, Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu,
20 and you will say, 'Also, your servant Jacob is behind us.'" For he thought, "I will appease him with the gift ahead of me, then see his face; perhaps he'll accept me." era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.”
21 So the gift passed on ahead of him, and he himself stayed that night in the camp. Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.
22 That night he got up, took his two wives, two female servants, and eleven sons, and crossed the Jabbok ford. Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki.
23 He took them and sent them across the stream, and likewise sent across everything he had. N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga.
24 And Jacob was left alone. And a man wrestled with him until the breaking of the day. Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya.
25 Seeing he could not defeat Jacob, the man touched his hip socket, and Jacob's hip was wrenched as they wrestled. Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja.
26 He said, "Let me go; dawn is breaking." But Jacob said, "I won't let you go unless you bless me." Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.” Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.”
27 And he said to him, "What is your name?" And he said, "Jacob." Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”
28 He said, "You will no longer be named Jacob, but Israel, for you have struggled with our Father and with men, and won." Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”
29 Jacob asked him, "Please tell me your name." He said, "Why do you ask my name?" And he blessed him there. Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.
30 So Jacob named the place Peniel: "For I have seen our Father face to face, yet my life was saved." Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”
31 The sun rose upon him as he passed Penuel, limping because of his hip. Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye.
32 This is why, even now, the Israelites won't eat the thigh muscle on the hip socket—because he struck Jacob's hip socket there, at the thigh muscle. Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]