Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Abraham married another wife, whose name was Keturah. Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula.
2 She gave birth to Zimran, Jokshan, Medan, Midian, Ishbak, and Shuah. Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa.
3 Jokshan fathered Sheba and Dedan. The sons of Dedan were the Asshurites, the Letushites, and the Leummites. Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu.
4 Midian's sons: Ephah, Epher, Hanoch, Abida, and Eldaah—all sons of Keturah. Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula.
5 Abraham gave all that he had to Isaac. Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina.
6 Abraham gave gifts to the sons of his concubines, then sent them away from his son Isaac while he was still alive, eastward to the east country. Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.
7 Abraham lived 175 years in all. Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano.
8 Abraham breathed his last, dying at a good old age, an old man full of years, and joined his people. Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi.
9 His sons Isaac and Ishmael buried him in the cave of Machpelah, in Ephron son of Zohar the Hittite's field near Mamre. Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule;
10 The field that Abraham had bought from the Hittites. There Abraham was buried, with Sarah his wife. ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we.
11 After the death of Abraham, our Father blessed his son Isaac. And Isaac settled near Beer-lahai-roi. Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.
12 This is the family record of Ishmael, Abraham's son, whom Hagar the Egyptian, Sarah's servant, bore to Abraham. Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
13 These are the names of Ishmael's sons, by name, in birth order: Nebaioth, Ishmael's firstborn, then Kedar, Adbeel, Mibsam, Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
14 Mishma, Dumah, Massa, ne Misuma, ne Duma, ne Massa,
15 Hadad, Tema, Jetur, Naphish, and Kedemah. ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema.
16 These are Ishmael's sons, these their names by their villages and encampments—twelve princes according to their tribes. Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye.
17 Ishmael lived 137 years, then breathed his last, died, and joined his people. Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe.
18 They settled from Havilah to Shur, east of Egypt toward Assyria; Ishmael lived in hostility toward all his relatives. Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.
19 This is the family line of Isaac, Abraham's son: Abraham fathered Isaac. Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu. Ibulayimu yazaala Isaaka.
20 Isaac was forty years old when he married Rebekah, daughter of Bethuel the Aramean of Paddan-aram, sister of Laban the Aramean. Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
21 Isaac prayed to our Father for his wife, since she was barren; our Father granted it, and his wife Rebekah conceived. Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto.
22 But the children struggled together within her, and she said, "If this is how it is, why is this happening to me?" So she went to ask our Father. Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
23 And our Father said to her: "Two nations are in your womb; two peoples from within you will be divided: one will be stronger than the other, and the older will serve the younger." Mukama n’amuddamu nti, “Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri, abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo, omu alibeera w’amaanyi okusinga munne, era omukulu yaaliweereza omuto.”
24 When the time came for her to give birth, there were twins in her womb! Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi.
25 The first came out red, his whole body like a hairy garment; so they named him Esau. Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu.
26 Then his brother came out, with his hand grasping Esau's heel, so he was named Jacob. Isaac was sixty years old when she bore them. Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
27 The boys grew up. Esau became a skilled hunter, a man of the field; Jacob was quiet, living in tents. Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka.
28 Isaac loved Esau, because he had a taste for wild game, but Rebekah loved Jacob. Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.
29 Jacob was cooking stew when Esau came in from the field, and he was famished. Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo.
30 Esau said to Jacob, "Let me gulp down this red stew—I'm famished!" That's why he was named Edom. Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
31 Jacob said, "Sell me your birthright now." Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”
32 Esau said, "Look, I am about to die; what good is a birthright to me?" Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”
33 Jacob said, "Swear to me first." So he swore to him and sold his birthright to Jacob. Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.
34 Jacob gave Esau bread and lentil stew; he ate, drank, got up, and left—Esau despised his birthright. Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda. Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]