Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 26 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now there was a famine in the land, besides the earlier famine that occurred in the days of Abraham. So Isaac went to Abimelech king of the Philistines, to Gerar. Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki kabaka w’Abafirisuuti.
2 Our Father appeared to him and said, "Do not go down to Egypt; settle in the land that I will tell you about. Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga.
3 Stay in this land, and I will be with you and bless you, for I will give all these lands to you and your offspring, and I will fulfill the oath that I swore to Abraham your father. Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu.
4 I will multiply your offspring like the stars in the sky and will give to your offspring all these lands, and through your offspring all the nations of the earth will be blessed, Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa;
5 because Abraham obeyed my voice and kept my charge, my commandments, my statutes, and my laws." kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange.”
6 So Isaac settled in Gerar. Bw’atyo Isaaka n’abeera mu Gerali,
7 The local men asked about his wife, and he answered, "She's my sister"—afraid to say "my wife," thinking, "The men here would kill me over Rebekah, since she's beautiful." abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.
8 When Isaac had been there a long time, Abimelech king of the Philistines looked down through a window and saw Isaac caressing his wife Rebekah. Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we.
9 So Abimelech summoned Isaac and said, "She is certainly your wife! How could you say, 'She is my sister'?" Isaac said to him, "Because I thought I might die because of her." Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?” Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”
10 Abimelech said, "What have you done to us? One of the people might easily have slept with your wife, and you'd have brought guilt on us." Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”
11 Abimelech ordered all the people, "Whoever touches this man or his wife will surely be put to death." Awo Abimereki n’alyoka alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Buli alikwata ku musajja ono oba ku mukyala we waakuttibwa.”
12 Isaac sowed in that land and reaped a hundredfold that year, because our Father blessed him. Isaaka n’asigala mu nsi omwo, n’afuna amakungula emirundi kikumi ag’ebyo bye yasiga, kubanga Mukama yamuwa omukisa.
13 The man grew rich and kept growing richer until he became very wealthy. N’afuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera n’agaggawala nnyo.
14 He had flocks and herds and a large household of servants, so that the Philistines envied him. Yalina ebisibo by’endiga bingi nnyo n’amagana g’ente, era n’abaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya.
15 The Philistines had filled in every well his father's servants dug in his father Abraham's days. Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.
16 Abimelech said to Isaac, "Leave us—you've grown far too strong for us." Ne Abimereki n’agamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”
17 So Isaac left there and camped in the Valley of Gerar, and he settled there. Awo Isaaka n’avaayo n’azimba mu kiwonvu eky’e Gerali, n’abeera omwo.
18 Isaac redug the water wells dug in his father Abraham's days, which the Philistines plugged after Abraham died, and called them by the names his father had called them. Isaaka n’azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka n’aziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.
19 But when Isaac's servants dug in the valley and found there a well of fresh spring water, Naye abaddu ba Isaaka bwe basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’ensulo,
20 Gerar's herders argued with Isaac's herders, saying, "The water is ours." He named the well Esek, for they argued with him. abasumba b’omu Gerali ne bayomba n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe.” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki, kubanga baawakana naye.
21 Then they dug another well, and they quarreled over that one too, so he named it Sitnah. Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna.
22 From there he moved and dug another well; they did not quarrel over it, so he named it Rehoboth, saying, "Now our Father has made room for us; we will be fruitful in the land." Awo n’avaayo n’asima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ng’agamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”
23 From there he went up to Beersheba. Bwe yava eyo n’agenda e Beeruseba.
24 That night our Father appeared to him and said, "I am the God of your father Abraham. Don't be afraid, for I am with you. I will bless you and multiply your offspring, for my servant Abraham's sake." Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”
25 There he built an altar and called on the name of our Father, pitched his tent, and there Isaac's servants dug a well. Awo n’azimbawo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Mukama, n’asimba eyo eweema ye. Era n’eyo abaddu be ne basimayo oluzzi.
26 Abimelech came to him from Gerar with Ahuzzath his adviser and Phicol, head of his army. Mu kiseera kye kimu Abimereki n’ava mu Gerali ng’ali ne Akuzasa gwe yeebuuzangako amagezi ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agenda eri Isaaka.
27 Isaac said to them, "Why come to me, since you hated me and sent me away from you?" Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?”
28 They said, "We clearly saw that God has been with you, so we said, 'Let there be an oath between us—between you and us—and let us make a covenant with you, Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe,
29 that you'll do us no harm—just as we didn't touch you but did you only good—and sent you away in peace. You are now blessed by God.'" nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gw’awadde omukisa.”
30 So Isaac made them a feast, and they ate and drank. Awo Isaaka n’abakolera ekijjulo ne balya ne banywa.
31 Early the next morning they swore an oath to each other; Isaac sent them off, and they left him in peace. Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka n’abawerekerako ne bava gy’ali mirembe.
32 That day Isaac's servants came and told him about the well they'd dug and said, "We found water!" Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.”
33 So he named it Shibah; therefore the name of the city is Beersheba to this day. N’alutuuma Siba; erinnya ly’ekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati.
34 At forty, Esau married Judith daughter of Beeri the Hittite, and Basemath daughter of Elon the Hittite. Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egy’obukulu, n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eroni naye Omukiiti.
35 And they were a source of grief to Isaac and Rebekah. Ne bakaluubiriza nnyo Isaaka ne Lebbeeka obulamu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]