1Now Abraham was old, well advanced in years, and our Father had blessed Abraham in everything.OLCBIbulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna.
2Abraham said to his oldest servant, who managed all he owned, "Please put your hand under my thigh,OLCBAwo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange
3I will have you swear by the Father of heaven and earth, not to take a wife for my son from the Canaanites' daughters, among whom I live,OLCBndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera,
4but go to my country and relatives, and get a wife for my son Isaac."OLCBwabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”
5The servant asked him, "What if the woman won't follow me to this land? Must I take your son back to the land you left?"OLCBOmuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?”
6Abraham said to him, "See to it that you do not take my son back there.OLCBIbulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange.
7Our Father, the Father of heaven, who took me from my father's house and the land of my relatives, who spoke to me and swore to me, 'I will give this land to your offspring'—he will send his angel ahead of you, and you will take a wife for my son from there.OLCBMukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo.
8But if she won't follow you, you're released from this oath of mine; only don't take my son back there."OLCBNaye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.”
9The servant put his hand under Abraham his master's thigh and swore to him about this.OLCBAwo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.
10The servant took ten of his master's camels, and all his master's good things in hand, and set out for Aram-naharaim, the city of Nahor.OLCBAwo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli.
11He had the camels kneel outside the city by the water well at evening, when women go out to draw water.OLCBObudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.
12Then he prayed, "Father of my master Abraham, please grant me success today, and show your faithful love to my master Abraham.OLCBN’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo.
13Here I stand by the spring of water, and daughters of the town's men are coming out to draw water.OLCBLaba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi.
14Let the young woman I say this to—'Please tip your jar so I may drink'—and who answers, 'Drink, and I will water your camels too'—be the one you have appointed for your servant Isaac. That is how I will know you have shown faithful love to my master."OLCBKale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”
15Before he finished speaking, Rebekah came out—daughter of Bethuel, son of Milcah, wife of Nahor, Abraham's brother—her jar on her shoulder.OLCBLaba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye.
16The girl was very beautiful, a virgin no man had known. She went down to the spring, filled her jar, and came up.OLCBOmuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.
17The servant ran to meet her, saying, "Please let me sip a little water from your jar."OLCBAwo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”
18"Drink, my lord," she said, and quickly lowered her jar from her shoulder and gave him a drink.OLCBN’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.
19When she finished giving him a drink, she said, "I'll draw water for your camels too, until they finish drinking."OLCBBwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.”
20She quickly emptied her jar into the trough, ran again to the well, and drew water for all his camels.OLCBBw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna,
21The man watched her silently, to know if our Father made his journey succeed, or not.OLCBomusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.
22When the camels finished drinking, the man took a gold nose ring weighing about a fifth of an ounce, and two gold bracelets for her wrists weighing about four ounces,OLCBEŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike.
23and said, "Whose daughter are you? Please tell me, is there room in your father's house for us to spend the night?"OLCBN’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?”
24She answered him, "I am the daughter of Bethuel, the son Milcah bore to Nahor."OLCBN’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.”
25She also said, "We have plenty of both straw and feed, and room to spend the night."OLCBN’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.”
26Then the man bowed down and worshiped our Father.OLCBAwo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza Mukama.
27He said, "Blessed be our Father, the Father of my master Abraham, who has not abandoned his faithful love and faithfulness toward my master. As for me, he led me on the journey to my master's relatives' house."OLCBN’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.”
28Then the young woman ran and told her mother's household about these things.OLCBAwo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna.
29Now Rebekah had a brother named Laban, and Laban ran out to the man at the spring.OLCBLebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja,
30Seeing the nose ring and bracelets on his sister's wrists, and hearing his sister Rebekah say, "The man told me this," he went out to the man—there he was, standing by the camels at the spring.OLCBLabbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi.
31He said, "Come in, blessed of God. Why stand outside? I've prepared the house and a place for the camels."OLCBLabbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”
32The man entered the house, and the camels were unloaded. Straw and feed were given to the camels, and water to wash his feet and the feet of the men with him.OLCBAwo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere.
33Food was set before him, but he said, "I won't eat until I've said what I have to say." "Go on," said Laban.OLCBOluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.” Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”
34So he said, "I am Abraham's servant.OLCBAwo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu.
35Our Father has greatly blessed my master and made him wealthy, giving him flocks, herds, silver, gold, male and female servants, camels, and donkeys.OLCBMukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi.
36Sarah, my master's wife, bore him a son in her old age; Abraham has given Isaac all he owns.OLCBEra Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina.
37My master made me swear, 'Don't take a wife for my son from the Canaanite women whose land I live in,OLCBMukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera.
38but go to my father's house, to my relatives, and take a wife for my son.'OLCBWabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’
39I said to my master, 'Perhaps the woman will not follow me.'OLCB“Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’
40But he said to me, 'Our Father, before whom I have walked, will send his angel with you and make your journey succeed, and you will take a wife for my son from my clan and from my father's house.OLCB“Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange.
41Then you'll be free of my oath once you reach my family; if they refuse to give her to you, you'll be free of my oath.'OLCBNaye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’
42Today when I came to the spring, I said, 'Father of my master Abraham, if you will make my journey succeed,OLCB“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko,
43here I am, standing by the spring of water. So when a young woman comes out to draw water and I say to her, "Please give me a little water from your jar to drink,"OLCBlaba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,”
44and she says to me, "Drink, and I'll draw water for your camels too"—let her be the woman our Father appointed for my master's son.'OLCBn’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’
45Before I finished praying in my heart, Rebekah came out, her jar on her shoulder, went down to the spring, and drew water. I said to her, 'Please let me drink.'OLCB“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’
46Quickly lowering her jar from her shoulder, she said, 'Drink—I'll water your camels too.' So I drank, and she watered the camels too.OLCB“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’
47I asked, 'Whose daughter are you?' She said, 'Bethuel's daughter, son of Nahor, whom Milcah bore him.' Then I put the ring on her nose and the bracelets on her wrists.OLCB“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye.
48I bowed and worshiped our Father, and blessed the Father of my master Abraham, who led me on the true path to take the daughter of my master's relative for his son.OLCBAwo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange.
49Now, if you will deal in faithful love and truth with my master, tell me; if not, tell me, so I can turn right or left."OLCBKale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”
50Laban and Bethuel answered, "This is from God; we can't say good or bad.OLCBAwo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri.
51Rebekah is before you; take her and go—let her be your master's son's wife, as our Father has spoken."OLCBLaba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”
52When Abraham's servant heard their words, he bowed down to the ground before our Father.OLCBOmuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama.
53The servant brought out silver and gold objects and clothing, gave them to Rebekah, and gave costly gifts to her brother and mother.OLCBN’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi.
54He and the men with him ate, drank, and spent the night there. In the morning they rose, and he said, "Send me to my master."OLCBAwo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo. Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”
55But her brother and her mother said, "Let the young woman stay with us ten days or so; then she may go."OLCBMwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”
56But he said, "Don't delay me—our Father has made my journey succeed. Send me away, let me go to my master."OLCBYe n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.”
57They said, "Let us call the young woman and ask her about it."OLCBNe bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.”
58They called Rebekah and asked, "Will you go with this man?" "I will go," she said.OLCBNe bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”
59So they sent off their sister Rebekah and her nurse, along with Abraham's servant and his men.OLCBAwo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be.
60They blessed Rebekah, saying, "Our sister, may you become mother of thousands upon thousands; may your offspring capture the cities of those who hate them."OLCBNe basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti, “Mwannyinaffe beera nnyina w’enkumi n’enkumi, abaana n’abazzukulu bo balyenga ebibuga by’abalabe baabwe.”
61Rebekah and her attendants got up, mounted the camels, and followed the man. So the servant took Rebekah and went on.OLCBAwo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.
62Now Isaac had come from Beer-lahai-roi, for he was living in the Negev.OLCBOlwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu.
63Isaac went out to meditate in the field at evening; looking up, he saw camels coming.OLCBAwo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja.
64Rebekah also looked up, and when she saw Isaac, she got down from her camel.OLCBNe Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira,
65She asked the servant, "Who is that man walking across the field to meet us?" "My master," he answered. So she took her veil and covered herself.OLCBn’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?” Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.
66Then the servant told Isaac everything he had done.OLCBAwo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda.
67Isaac brought her into his mother Sarah's tent, married Rebekah, and loved her. So Isaac was comforted after his mother's death.OLCBAwo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.