Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Sarah lived to be 127 years old; these were the years of Sarah's life. Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu.
2 Sarah died at Kiriath-arba, Hebron, in Canaan. Abraham came to mourn and weep for her. N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.
3 Then Abraham rose from beside her body and said to the Hittites, Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti n’abagamba nti,
4 "I am a foreigner and stranger among you; give me burial ground among you, to bury my dead out of my sight." “Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.”
5 The Hittites replied to Abraham. Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti,
6 "Hear us, my lord: you are a prince of God among us. Bury your dead in our best tomb; none of us will refuse you his tomb for burying your dead." “Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”
7 Abraham rose and bowed low before the people of the land, the Hittites. Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi.
8 He said to them, "If you're willing I bury my dead away from me, hear me, and plead with Ephron son of Zohar for me, N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali,
9 to give me his cave of Machpelah, at his field's edge. Let him sell it to me among you, for full price, as burial property." anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.”
10 Ephron the Hittite, sitting among the Hittites, answered Abraham before all the Hittites entering his city's gate. Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti,
11 "No, my lord, listen: I give you the field, I give you the cave in it. Before my people I give it to you. Bury your dead." “Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”
12 Again Abraham bowed before the people of the land. Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna.
13 He said to Ephron before the people, "If you're willing, hear me: I'll pay for the field—take it from me, so I can bury my dead there." N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.”
14 Ephron replied to Abraham. Efulooni n’addamu Ibulayimu nti,
15 "My lord, hear me: land worth about ten pounds of silver—what is that between us? Bury your dead." “Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”
16 Abraham agreed to Ephron's terms and weighed out for him the price he had named before the Hittites: about ten pounds of silver, at the standard weight used by merchants. Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.
17 Ephron's field in Machpelah, facing Mamre—the field, its cave, and every tree within its borders, all around—was confirmed, Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya
18 to Abraham as his property, before all the Hittites who came to his city's gate. Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba.
19 After this, Abraham buried Sarah his wife in the cave of Machpelah's field, facing Mamre—Hebron—in the land of Canaan. Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani.
20 So the field and its cave were deeded to Abraham by the Hittites as a burial holding. Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]