Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Abraham traveled from there to the Negev, settled between Kadesh and Shur, and lived as a foreigner in Gerar. Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali.
2 Abraham said of Sarah, his wife, "She is my sister." So Abimelech king of Gerar sent for her and took Sarah. Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
3 But our Father came to Abimelech in a dream that night: "You are as good as dead because of the woman you took, for she is a married woman." Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.”
4 Abimelech had not gone near her. He said, "Sovereign God, would you destroy even an innocent nation? Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango.
5 Didn't he himself tell me, 'She's my sister'? And she herself also said, 'He's my brother.' I did this with a sincere heart and innocent hands." Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
6 Then our Father said to him in the dream, "Yes, I know you did this with integrity of heart, and I have kept you from sinning against me—that's why I didn't let you touch her. Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako.
7 Now return the man's wife, for he's a prophet who will pray for you, and you'll live. If you don't return her, know you will surely die, you and all who are yours." Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
8 Abimelech rose early that morning, called all his servants, and told them all that had happened; the men were badly frightened. Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo.
9 Abimelech summoned Abraham and asked, "What have you done to us? How did I sin against you, that you brought a great sin on me and my kingdom? You've done to me what should never be done." Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.”
10 Abimelech also said to Abraham, "What did you have in mind, that you did such a thing?" Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?”
11 Abraham said, "I thought: surely there's no fear of our Father here, and they will kill me for my wife." Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange.
12 Besides, she truly is my sister, my father's daughter but not my mother's, and she became my wife. Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange.
13 When our Father made me wander from my father's house, I told her: Show me this kindness—wherever we go, say of me, "He is my brother." Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”
14 Abimelech took sheep, cattle, and male and female servants, gave them to Abraham, and returned Sarah his wife to him. Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we.
15 Abimelech said, "My land is open to you; settle wherever you please." Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
16 And to Sarah he said, "Look, I am giving your brother 1,000 pieces of silver. This is to cover the wrong done to you in the eyes of all who are with you; before everyone you are fully cleared." N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
17 Abraham prayed to our Father, who healed Abimelech, his wife, and his female servants, so they could bear children again, Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana.
18 for our Father had completely closed up every womb in Abimelech's household because of Sarah, Abraham's wife. Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]