Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The two angels came to Sodom that evening; Lot sat at Sodom's gate. Seeing them, he rose to meet them and bowed, face to the ground. Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama,
2 "Please, my lords," he said, "stop at your servant's house, spend the night, wash your feet; rise early and go your way." "No," they said, "we'll spend the night in the square." n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.” Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”
3 He pressed them hard, so they turned aside to him, entered his house. He made them a feast, baked bread without yeast, and they ate. Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya.
4 Before they lay down, the men of the city—Sodom's men—young and old, all the people, without exception, surrounded the house. Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba;
5 They called to Lot, "Where are the men who came to you tonight? Bring them out—let us have sex with them." ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”
6 Lot went out to them at the entrance, shutting the door behind him, Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi,
7 and said, "Please, my brothers, don't do evil. n’abagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo.
8 I have two daughters who've never been with a man. I'll bring them out to you—do to them as you please. But do nothing to these men; they've come under my roof's protection." Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.”
9 They said, "Get back!" Then, "This outsider came to stay, and now he judges us? We'll treat you worse than them." They pressed hard against Lot and moved in to break down the door. Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.
10 But the men reached out, pulled Lot into the house with them, and shut the door. Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi.
11 They struck the men at the house door blind, small to great, till they wore themselves out searching for the door. Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.
12 The men said to Lot, "Who else do you have here—son-in-law, sons, daughters, anyone in the city who's yours? Bring them out of this place. Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino;
13 We're about to destroy this place - the outcry against its people has grown great before our Father, and our Father sent us to destroy it." kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era atutumye okukizikiriza.”
14 Lot went out and spoke to his sons-in-law, betrothed to his daughters: "Get up, leave this place—our Father is about to destroy the city!" Yet his sons-in-law took it as a joke. Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka.
15 At dawn the angels urged Lot: "Get up, take your wife and two daughters here, or you'll be consumed in the city's punishment." Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.”
16 He hesitated, so the men grabbed his hand, his wife's, and two daughters', our Father pitying him, and they brought him out and left him outside the city. Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga.
17 When they were brought outside, one of them said, "Run for your life! Don't look back or stop anywhere in the valley. Flee to the hills, or you'll be swept away." Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”
18 But Lot said to them, "No, please, my Sovereign Father. Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange;
19 Your servant has found favor with you; you've shown great kindness saving my life. But I can't flee to the hills—disaster will catch me and I'll die. Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa.
20 Please—that town is near, small enough to run to. Let me escape there—isn't it small?—so I may live." Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!”
21 He said to him, "I grant this favor too: I won't overthrow the town you mentioned. N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko.
22 Hurry, flee there—I can do nothing until you arrive." That's why the town is named Zoar. Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali.
23 The sun had risen over the land when Lot reached Zoar. Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa.
24 Then our Father rained sulfur and fire out of heaven on Sodom and Gomorrah. Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu;
25 He destroyed those cities, the whole plain, all the cities' residents, and everything growing on the ground. n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu.
26 But Lot's wife looked back from behind him, and she became a pillar of salt. Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo.
27 Early the next morning Abraham went to the place where he had stood before our Father. Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama;
28 He looked toward Sodom, Gomorrah, and the whole plain, and saw smoke rising from the land like smoke from a kiln. n’atunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola n’okwolekera ekitundu kyonna eky’olusenyi, n’alaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka.
29 When our Father destroyed the plain's cities, our Father remembered Abraham and brought Lot out of the overthrow of the cities where Lot lived. Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga.
30 Lot went up from Zoar to live in the mountains with his two daughters, afraid to stay in Zoar; he and his two daughters lived in a cave. Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku.
31 The firstborn told the younger, "Our father is old; no man remains in the land to sleep with us, as is customary everywhere. Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri.
32 Come, let's give our father wine, then sleep with him, and keep offspring alive through our father." Jjangu tunywese kitaffe omwenge, tulyoke twebake naye, tusobole okufuna ezzadde nga liva mu kitaffe.”
33 That night they gave their father wine; the firstborn went in and lay with him. He never knew when she lay down or rose. Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka.
34 Next day the firstborn said to the younger, "I slept with my father last night. Let's give him wine again tonight—go sleep with him, so we preserve offspring from our father." Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.”
35 That night too they had their father drink wine; the younger got up and slept with him, and he did not know when she lay down or when she got up. Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose.
36 So both of Lot's daughters became pregnant by their father. Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu n’aba olubuto nga lwa kitaabwe.
37 The firstborn bore a son, named him Moab—father of the Moabites to this day. Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano.
38 The younger also had a son and named him Ben-Ammi—father of the Ammonites to this day. Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]