Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now our Father appeared to Abraham at the oaks of Mamre while he sat at his tent's entrance in the day's heat. Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye.
2 He looked up and saw three men standing near him. Seeing them, he ran from his tent entrance to meet them and bowed to the ground. Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi,
3 He said, "My Sovereign Father, if I have found favor with you, please don't pass by your servant. n’agamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo.
4 Let a little water be brought to wash your feet and rest under the tree. Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti,
5 Let me bring a piece of bread so you can refresh yourselves before you go on, since you've come to your servant." They said, "Do as you've said." nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.” Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”
6 Abraham hurried into the tent to Sarah and said, "Quick, take about twenty-five pounds of fine flour, knead it, and make bread." Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”
7 Abraham ran to the herd, took a tender, good calf, and gave it to the servant, who hurried to prepare it. Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka eyayanguwa okugifumba.
8 He took curds, milk, and the calf that had been prepared, set them before the men, then stood by them under the tree while they ate. Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya.
9 They asked him, "Where is Sarah your wife?" "There, in the tent," he said. Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.”
10 Then our Father said, "I will certainly return to you at this time next year, and Sarah your wife will have a son." Sarah listened at the tent entrance behind him. Awo omu ku bo n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we.
11 Abraham and Sarah were old, advanced in years; Sarah had stopped menstruating. Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi.
12 Sarah laughed within herself, saying, "After I'm worn out, will I have pleasure, my lord being old too?" Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”
13 Then our Father said to Abraham, "Why did Sarah laugh, saying, 'Will I really bear a child, old as I am?' Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’
14 Is anything too hard for your Father? I will return to you at the appointed time next year, and Sarah will have a son." Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
15 Sarah denied it, saying, "I didn't laugh," for she was afraid. He said, "No, you did laugh." Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde. N’amuddamu nti, “Nedda osese.”
16 The men set out from there and looked down toward Sodom, and Abraham walked with them to see them off. Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako.
17 Now our Father said, "Will I hide from Abraham what I am about to do, Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola?
18 since Abraham will surely become a great and mighty nation, and all earth's nations will be blessed through him? Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.
19 For I have chosen him, so that he will direct his children and his household after him to keep my way by doing what is right and just, so that I may fulfill what I have promised Abraham." Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”
20 Then our Father said, "The cry against Sodom and Gomorrah is great, and their sin very serious, Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,
21 that I will go down and see whether they have done entirely as the outcry reaching me claims; if not, I will know." nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”
22 So the men turned from there and went toward Sodom, while Abraham remained standing before our Father. Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama.
23 Then Abraham drew near and said, "Will you really sweep away the righteous along with the wicked? Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?
24 Suppose fifty righteous are in the city—will you really sweep it away, not sparing the place for the sake of the fifty righteous in it? Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
25 Far be it from you to kill the righteous with the wicked, treating them alike! Far be it from you! Won't the Judge of all the earth do justice?" Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
26 Our Father said, "If I find fifty righteous within the city of Sodom, I'll spare the whole place for them." Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”
27 Abraham said, "I have dared to speak to my Sovereign Father, though only dust and ashes. Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu!
28 Suppose the fifty righteous lack five. Will you destroy the whole city for five?" And our Father said, "I won't destroy it if I find forty-five there." Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?” N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”
29 He spoke to him again: "Suppose forty are found there." He said, "For forty's sake I won't do it." Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.” N’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”
30 Abraham said, "May my Sovereign Father not be angry, and let me speak. Suppose thirty are found there." He said, "I will not do it if I find thirty there." Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.” N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”
31 Abraham said, "Since I have dared to speak to my Sovereign Father, suppose only twenty are found there." He said, "For twenty's sake, I will not destroy it." N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.” N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”
32 Then he said, "May my Sovereign Father not be angry, let me speak just once more: suppose only ten are found there." And our Father said, "For ten's sake, I will not destroy it." Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.” N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”
33 When our Father finished speaking with Abraham, he left; Abraham returned to his place. Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n’agenda, ne Ibulayimu n’addayo ewuwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]