Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Abram was ninety-nine years old, our Father appeared to him and said, "I am El Shaddai—your Father Almighty. Walk before me and be blameless. Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
2 And I will make my covenant between me and you, and I will multiply you exceedingly." Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”
3 Then Abram fell on his face, and our Father spoke with him, saying: Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti,
4 "As for me, my covenant is with you, and you will become father of a multitude of nations. “Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi.
5 Your name will no longer be Abram, but Abraham, for I have made you father of a multitude of nations. Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
6 I will make you extremely fruitful; I will turn you into many nations, and kings will come from you. Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe.
7 I will establish my covenant between me and you and your descendants after you, for all generations—an everlasting covenant—to be Father to you and your descendants after you. Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe.
8 I will give you and your descendants after you the land where you live as a foreigner—all the land of Canaan—as an eternal possession; and I will be their Father." Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”
9 Then our Father said to Abraham, "As for you: keep my covenant, you and your children after you, throughout their generations. Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna.
10 This is my covenant to keep, between me and you and your descendants after you: every male among you must be circumcised. Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.
11 Circumcise the flesh of your foreskin; it will be the sign of the covenant between me and you. Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
12 Every male among you, generation after generation, must be circumcised at eight days old—whether born in your house or bought with silver from a foreigner not your own offspring. Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga,
13 Everyone born in your house or bought with your money must be circumcised. My covenant will be in your flesh, an everlasting covenant. oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
14 Any uncircumcised male not circumcised in his foreskin's flesh will be cut off from his people—he has broken my covenant." Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”
15 Then our Father said to Abraham, "Don't call your wife Sarai anymore—her name is Sarah. Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
16 I will bless her and indeed give you a son by her. I will bless her—she will become nations; kings of peoples will come from her." Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”
17 Abraham fell on his face, laughing, and said to himself, "Can a son be born to a man who is one hundred years old? Can ninety-year-old Sarah give birth?" Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?”
18 Then Abraham said to our Father, "If only Ishmael might live in your presence!" Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”
19 But our Father said, "No, your wife Sarah will bear you a son, and you will name him Isaac. I will confirm my covenant with him, an everlasting covenant for his descendants after him. Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
20 As for Ishmael, I have heard you. I will bless him, make him fruitful, and multiply him exceedingly. He will father twelve leaders, and I will make him into a great nation. Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi.
21 But I will confirm my covenant with Isaac, whom Sarah will bear you at this time next year." Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
22 When he had finished speaking with Abraham, our Father went up from him. Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali.
23 Then Abraham took Ishmael his son, everyone born in his household, and everyone bought with his money—every male in Abraham's household—and circumcised the flesh of their foreskins that very day, as our Father had told him. Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.
24 Abraham was ninety-nine years old when he was circumcised in the flesh of his foreskin. Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe.
25 His son Ishmael was thirteen when he was circumcised in the flesh of his foreskin. Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe.
26 On that very day Abraham and Ishmael his son were circumcised. Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa.
27 All the men of his household—house-born and bought with silver from a foreigner—were circumcised with him. N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]