Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Sarai, Abram's wife, had borne him no children. She had an Egyptian servant named Hagar. Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana;
2 Sarai told Abram, "Look, our Father has kept me from bearing children. Go sleep with my servant; maybe I'll build a family through her." Abram did as Sarai said. Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.
3 After Abram had lived in Canaan ten years, Sarai his wife took her Egyptian servant Hagar and gave her to her husband Abram as a wife. Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.
4 He slept with Hagar; she conceived, and seeing she was pregnant, she despised her mistress. Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we.
5 Sarai said to Abram, "My wrong is on you. I gave my servant into your arms; now she sees she's pregnant, she despises me. May our Father judge between me and you." Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!”
6 Abram told Sarai, "Your servant is in your hands; do to her what seems good to you." Sarai mistreated her, and she fled from her presence. Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
7 The messenger of our Father found Hagar at the wilderness spring, the spring on the way to Shur. Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli.
8 "Hagar, Sarai's servant," he said, "where have you come from, and where are you going?" "I'm running away from my mistress Sarai," she replied. N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
9 "Go back to your mistress," the messenger of our Father told her, "and submit to her authority." Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.”
10 The messenger of our Father told her, "I will multiply your descendants until they can't be counted." Era Malayika n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”
11 The messenger of our Father also said to her: "You are now pregnant and will give birth to a son. You will name him Ishmael, for I have heard of your misery. Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
12 He will be a wild donkey of a man, his hand against everyone and everyone's hand against him, and he will live in hostility toward all his brothers." Aliba ng’entulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”
13 She named our Father who spoke to her, "You are El Roi—my God who sees me," for she said, "I have now seen the One who sees me." Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
14 That is why the well was called Beer-lahai-roi; it lies between Kadesh and Bered. Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15 So Hagar bore Abram a son, and Abram named the son she had borne Ishmael. Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri.
16 Abram was eighty-six years old when Hagar bore him Ishmael. Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]