Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After these things, our Father's word came to Abram in a vision: "Don't fear, Abram. I'm your shield, your very great reward." Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti, “Totya Ibulaamu, Nze ngabo yo era empeera yo ennene ennyo.”
2 But Abram said, "My Sovereign Father, what will you give me, since I'm childless, and my heir is Eliezer of Damascus?" Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?”
3 Abram said, "You've given me no offspring; a servant born in my house will inherit from me." Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4 The word of our Father came to him: "This man won't be your heir; a son from your own body will be your heir." Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.”
5 He brought him outside and said, "Look at the sky and count the stars, if you're able." Then he said, "So will your descendants be." N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
6 Abram believed our Father, and our Father credited it to him as righteousness. Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu.
7 He said to him, "I am your Father, who brought you from Ur of the Chaldeans to give you this land to possess." N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.”
8 But Abram said, "My Sovereign Father, how can I know that I will take possession of it?" Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?”
9 He said to him, "Take me a three-year-old heifer, goat, and ram, a turtledove, and a young pigeon." Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
10 Abram brought all these to him, cut them in half, and set each half opposite the other; but did not cut the birds. Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri.
11 When birds of prey came down on the carcasses, Abram drove them away. Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.
12 As the sun set, deep sleep fell on Abram, and great terror and darkness fell over him. Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira.
13 Then our Father told Abram, "Be certain: your descendants will live as foreigners in a land not theirs, enslaved and oppressed 400 years. Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina.
14 I will also judge the nation they serve, and afterward they will come out with great wealth. Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi.
15 You will go to your fathers in peace, buried at a good old age. Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo.
16 In the fourth generation they will return here, for the Amorites' guilt is not yet complete." Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”
17 After sunset, in the dark, a smoking firepot and blazing torch appeared and passed between the pieces. Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino.
18 That day our Father covenanted with Abram: "I give your descendants this land, from Egypt's river to the great river, the Euphrates, Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:
19 the land of the Kenites, the Kenizzites, the Kadmonites, Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni,
20 the Hittites, the Perizzites, the Rephaites, n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa,
21 the Amorites, the Canaanites, the Girgashites, and the Jebusites." n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]