Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now our Father visited Sarah, just as he had said, and did for her what he had promised. Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza.
2 Sarah conceived, bore Abraham a son in his old age, at the set time our Father had promised him. Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Katonda kye yamugamba.
3 Abraham named the son Sarah had borne him Isaac. Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka.
4 Abraham circumcised his son Isaac at eight days old, as our Father had commanded him. Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira.
5 Abraham was one hundred years old when his son Isaac was born to him. Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.
6 Sarah said, "our Father made me laugh; everyone who hears will laugh with me." Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.”
7 She added, "Who would have told Abraham that Sarah would nurse children? Yet I've borne him a son in his old age." Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
8 The child grew and was weaned; the day Isaac was weaned, Abraham threw a great feast. Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.
9 But Sarah saw the son whom Hagar the Egyptian had borne to Abraham, and he was mocking. Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka.
10 She said to Abraham, "Drive out this slave woman and her son; this slave woman's son will never inherit with my son Isaac." N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”
11 This troubled Abraham deeply, because it concerned his son. Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima.
12 But our Father said to Abraham, "Don't be upset about the boy and your slave woman. Listen to Sarah in all she tells you, for your offspring will be named through Isaac. Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.
13 I will also make the slave woman's son a nation, since he is your offspring." Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.”
14 Early next morning Abraham took bread and a skin of water, gave them to Hagar, put them on her shoulder along with the child, and sent her away. She left and wandered the wilderness of Beersheba. Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
15 When the water in the waterskin was gone, she put the boy under one of the bushes. Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti.
16 She went and sat down about a bowshot away, for she said, "I can't watch the boy die." Then she sat there, lifted her voice, and wept. Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
17 Our Father heard the boy's voice; his messenger called to Hagar from heaven: "What's wrong, Hagar? Don't be afraid—our Father has heard the boy's voice where he lies. Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali.
18 Get up, lift the boy and take him by the hand, for I will make him a great nation." Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19 Then our Father opened her eyes; she saw a well of water, went and filled the waterskin, then gave the boy a drink. Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.
20 Our Father was with the boy as he grew up. He lived in the wilderness and became an archer. Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa.
21 He lived in the wilderness of Paran, and his mother got him a wife from Egypt. Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.
22 At that time, Abimelech and Phicol, commander of his army, said to Abraham, "God is with you in all you do. Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola:
23 Now swear to me here by God that you won't betray me, my children, or my descendants. Show me and this land where you've lived as a foreigner the same kindness I've shown you." kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”
24 Abraham said, "I swear it." Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.”
25 Then Abraham complained to Abimelech about a well of water that Abimelech's servants had seized. Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako.
26 Abimelech replied, "I don't know who did this. You didn't tell me, and I only heard of it today." Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.”
27 Abraham took sheep and cattle and gave them to Abimelech, and the two made a covenant. Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.
28 Abraham set apart seven ewe lambs from the flock, Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye.
29 and Abimelech asked Abraham, "What is the meaning of these seven ewe lambs you have set apart?" Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?”
30 He replied, "Accept these seven ewe lambs from me as proof that I dug this well." N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”
31 So that place was called Beersheba, because there the two of them swore an oath. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira.
32 So they made a covenant at Beersheba. Then Abimelech and Phicol, his army commander, returned to Philistine land. Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.
33 Abraham planted a tamarisk in Beersheba, and there he called on the name of our Father, El Olam—our everlasting Father. Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo.
34 And Abraham stayed in the land of the Philistines for a long time. Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]