Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 32 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the people saw Moses delayed coming down the mountain, they gathered around Aaron and said to him, "Get up, make us gods to go before us. This Moses, the man who brought us up from the land of Egypt—we don't know what's happened to him." Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”
2 Aaron told them, "Take off the gold earrings on the ears of your wives, sons, and daughters, and bring them to me." Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.”
3 All the people removed the gold rings from their ears and brought them to Aaron. Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni.
4 He took the gold from their hands, shaped it with an engraving tool, and cast it into a calf. Then they said, "These are your gods, Israel, who brought you up from the land of Egypt!" Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”
5 Seeing this, Aaron built an altar before it and announced, "Tomorrow is a festival to our Father." Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.”
6 They rose early next day, offered burnt offerings, and brought peace offerings. The people sat to eat and drink, then got up to revel. Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.
7 Then our Father said to Moses, "Go down, because your people, whom you brought up from the land of Egypt, have corrupted themselves. Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye;
8 They have quickly turned from the way I commanded them, made themselves a cast calf, bowed to it, sacrificed to it, and said, 'Israel, these are your gods who brought you up from the land of Egypt.'" bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”
9 Our Father said to Moses, "I have seen this people, and they are a stubborn people. Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu.
10 Now leave me alone, that my anger may burn against them and I may consume them, and I will make you a great nation." Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”
11 Moses pleaded with our Father: "Why, our Father, does your anger burn against your people, whom you brought out of the land of Egypt with great power and a mighty hand? Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi?
12 Why should the Egyptians say, 'He brought them out with evil intent, to kill them in the mountains and wipe them off the face of the earth'? Turn from your burning anger; relent from this disaster against your people. Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo.
13 Remember Abraham, Isaac, and Israel, your servants, to whom you swore by yourself and told them: 'I will multiply your offspring like the stars of heaven, and I will give your offspring all this land I have promised, and they will inherit it forever.'" Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ”
14 So our Father relented from the disaster he had spoken of bringing on his people. Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.
15 Moses turned and went down from the mountain, the two tablets of the testimony in his hand, tablets written on both sides, front and back. Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi.
16 The tablets were the work of our Father; the writing was the writing of our Father, engraved on the tablets. Ebipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.
17 When Joshua heard the sound of the people shouting, he told Moses, "That's the sound of war in the camp." Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”
18 Moses replied, "Not the sound of victory's shout, nor the sound of defeat's cry—I hear the sound of singing." Naye n’amuddamu nti, “Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi, oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa, naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”
19 As Moses neared the camp and saw the calf and the dancing, his anger flared; he threw the tablets from his hands, shattering them at the base of the mountain. Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi.
20 He took the calf they made, burned it in fire, ground it to powder, scattered it on the water, and made the Israelites drink it. N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.
21 Moses said to Aaron, "What did this people do to you, that you brought such great sin on them?" Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”
22 Aaron said, "Don't be angry, my lord; you know the people are inclined to evil. Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona.
23 They said to me, 'Make us gods to go ahead of us. This Moses, the man who brought us out of the land of Egypt—we can't say what became of him.' Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’
24 I told them, 'Whoever has gold, strip it off.' They gave it to me; I threw it into the fire, and out came this calf." Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”
25 Moses saw that the people ran wild, for Aaron had let them run wild, to their enemies' mockery. Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera,
26 Moses stood at the camp gate and said, "Whoever is for our Father, come to me!" All the Levites gathered around him. n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali.
27 He said to them, "This is what our Father says: Strap your sword to your side, each of you. Go back and forth through the camp, gate to gate, and kill your brother, your friend, your neighbor." N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ”
28 The Levites did as Moses commanded, and that day about 3,000 of the people fell. Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa.
29 Moses said, "Today you set yourselves apart for our Father, each at the cost of his son and brother, so he might bless you today." Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”
30 The next day Moses told the people, "You have sinned greatly. Now I will go up to our Father—perhaps I can atone for your sin." Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.”
31 Moses returned to our Father and said, "Oh, this people has sinned greatly, making themselves gods of gold. Bw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu!
32 Now, if you'll forgive their sin—if not, blot me, please, out of the book you wrote." Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”
33 But our Father told Moses, "I will blot out of my book whoever has sinned against me. Naye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange.
34 Go, lead the people where I told you; my angel will go before you. But on the day I settle accounts, I will charge them with their sin." Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”
35 Then our Father struck the people with plague because of what they did with the calf that Aaron made. Awo Mukama n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]