Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 31 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Look, I have called by name Bezalel son of Uri, son of Hur, of Judah's tribe, “Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda;
3 and I have filled him with my Spirit, with wisdom, with understanding, with knowledge, and with all craftsmanship, era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono
4 to devise artistic designs, to work in gold, in silver, and in bronze, okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana,
5 in cutting stones for setting and in carving wood, to work in every kind of craft. okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri.
6 I myself have appointed Oholiab son of Ahisamach, of the tribe of Dan, to work alongside him. I have put wisdom in every skilled craftsman's heart, so they can make all I have commanded you. Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba. “Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:
7 The tent of meeting, the ark of the testimony, the atonement cover over it, and all the tent's furnishings, “Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira, awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema,
8 the table and its utensils, the pure lampstand with all its utensils, and the altar of incense; emmeeza n’ebigenderako, ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako, n’ekyoto eky’obubaane,
9 the altar of burnt offering with all its utensils, and the basin with its stand; n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako, n’ebbensani ne kw’etuula;
10 the woven garments, the holy garments for Aaron the priest, and his sons' garments for priestly service, n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;
11 and the anointing oil, and fragrant incense for the holy place—they must make them exactly as I commanded you." n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu. “Byonna babikole nga bwe nakulagira.”
12 Then our Father said to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
13 "You yourself speak to the Israelites: Above all, keep my Sabbaths—a sign between me and you, generation after generation, so you know that I, your Father, make you holy. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.
14 Keep the Sabbath—it is holy to you. Whoever desecrates it must surely be put to death; whoever does work on it will be cut off from among his people. “ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe.
15 Six days work may be done, but the seventh day is a Sabbath of complete rest, holy to me. Anyone who works on the Sabbath day must surely be put to death. Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa.
16 The Israelites must keep the Sabbath, observing the Sabbath in every generation as a lasting covenant. Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo.
17 It's a sign between me and the Israelites forever: in six days I made heaven and earth; on the seventh day I rested and was refreshed." Kanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’ ”
18 When he finished speaking with Moses on Mount Sinai, he gave him the two testimony tablets, stone tablets, written by the finger of our Father. Awo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, n’awa Musa ebipande bibiri eby’amayinja, eby’Endagaano Katonda gye yawandiika n’engalo ye, ye kennyini.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]