Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 33 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses, "Leave here, you and the people you brought up out of Egypt, for the land I swore to Abraham, Isaac, and Jacob: I will give it to your offspring. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Vva mu kifo kino ogende, ggwe n’abantu be waggya mu nsi y’e Misiri, olage mu nsi gye nalayirira Ibulayimu ne Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’
2 I will send an angel before you and drive out the Canaanites, Amorites, Hittites, Perizzites, Hivites, and Jebusites. Ndiweereza malayika abakulemberenga; era ndigobamu Abakanani, n’Abamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.
3 Go up to a land flowing with milk and honey, but I won't go up among you, for you're a stubborn people, and I might destroy you on the way." Yambuka mu nsi ekulukutiramu amata n’omubisi gw’enjuki. Naye sijja kugenda nammwe; sirwa kubazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ab’ensingo enkakanyavu.”
4 When the people heard this distressing news, they mourned, and no one put on their jewelry. Abantu bwe baawulira amawulire ago ag’ennaku, ne bakungubaga ne watabaawo ayambala eby’omu matu wadde eby’oku mikono ebyokwewoomya.
5 For our Father told Moses, "Say to Israel's people: You are a stubborn people. If I went among you for one moment, I would destroy you. Now remove your ornaments, so I can decide what to do with you." Kubanga Mukama yali alagidde Musa nti, “Gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Mulina omutima omukakanyavu, era singa ntambula nammwe okumala akaseera wadde katono katya, nzija kubazikiriza. Kale kaakano mweyambulemu ebyokwewoomya byammwe, ndyoke ndabe kye nnaakola.’ ”
6 So the people of Israel stripped off their jewelry from Mount Horeb onward. Bwe batyo abaana ba Isirayiri ne beeyambulamu eby’obugagga byabwe nga bali ku lusozi Kolebu.
7 Moses would take the tent and pitch it outside the camp, far from the camp, calling it the tent of meeting. Everyone seeking our Father would go out to the tent of meeting, outside the camp. Kale, Musa yaddiranga eweema n’agisimba ebweru w’olusiisira, ewala ddala n’olusiisira; n’agiyita Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ne buli eyeetaaganga Mukama, ng’agenda awali Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, eyali ebweru w’olusiisira.
8 Whenever Moses went out to the tent, all the people rose and stood, each at his tent's entrance, watching Moses until he entered. Era buli Musa lwe yafulumanga n’alaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gy’eweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema.
9 Whenever Moses entered the tent, the pillar of cloud descended, stood at the entrance, and our Father spoke with Moses. Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey’ekire n’ekka n’eyimirira mu mulyango gw’Eweema; Mukama n’alyoka ayogera ne Musa.
10 When all the people saw the pillar of cloud standing at the tent entrance, they would rise and worship, each at his own tent entrance. Abantu bwe baalabanga ng’empagi ey’ekire eyimiridde mu mulyango gw’Eweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gw’eweema ye.
11 So our Father would speak to Moses face to face, as one speaks with a friend. Moses would return to camp, but his young servant Joshua son of Nun would not leave the tent. Bw’atyo Mukama bwe yayogeranga ne Musa nga batunulaganye, ng’omuntu bw’ayogera ne mukwano gwe. Musa bwe yaddangayo mu lusiisira, omuweereza we, omuvubuka Yoswa mutabani wa Nuuni, ye n’asigalayo mu Weema.
12 Moses said to our Father, "Look, you tell me, 'Bring up this people,' but you haven't told me whom you'll send with me. Yet you said, 'I know you by name, and you have also found favor in my sight.' Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’
13 Now, if I have found favor in your eyes, please show me your ways, so I may know you and keep finding favor in your eyes. Remember too—this nation is your people." Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”
14 And he said, "My presence will go with you, and I will give you rest." Mukama n’addamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”
15 Moses said to him, "If your presence doesn't go with us, don't bring us up from here. Musa n’amugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano.
16 How else will it be known that I have found favor with you, I and your people? Isn't it by your going with us, so we are set apart, I and your people, from every other people on the face of the earth?" Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”
17 And our Father said to Moses, "This very thing you have asked I will do, for you have found favor in my sight, and I know you by name." Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo.”
18 Then Moses said, "Please show me your glory." Musa n’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”
19 He said, "I will make all my goodness pass before you and proclaim my name before you. I will be gracious to whom I will be gracious, and show compassion on whom I will show compassion." Mukama n’agamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, Mukama. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.”
20 But he said, "You cannot see my face, for no one may see me and live." Era n’agamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako n’aba mulamu.”
21 And our Father said, "There is a place beside me; you will stand on the rock, Mukama n’agamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kw’onooyimirira.
22 while my glory passes by, I will put you in a rock crevice and cover you with my hand until I have passed by. Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo.
23 Then I will remove my hand, and you will see my back; my face will not be seen." Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, n’olaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]