Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So the king and Haman came to drink with Queen Esther. Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka.
2 On day two, over wine, the king again asked, "What is your petition, Queen Esther? It's granted. Your request? Up to half the kingdom—done." Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
3 Queen Esther answered, "If I've found favor in your eyes, king, and it pleases the king, give me my life at my petition, my people at my request. Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira.
4 We're sold, I and my people, to be destroyed, killed, wiped out. Were we merely sold as male and female slaves, I'd have kept silent; such trouble wouldn't warrant disturbing the king." Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
5 Then King Xerxes said to Queen Esther, "Who is he, and where, who dares do this?" Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?”
6 Esther said, "An adversary and enemy—this wicked Haman!" Haman was terrified before the king and queen. Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
7 Enraged, the king rose from the wine to the palace garden, while Haman stayed to beg Queen Esther for his life, seeing the king meant his ruin. Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.
8 The king came back from the palace garden to the banquet hall. Haman had fallen on the couch where Esther was. The king said, "Will he even assault the queen while I'm here?" As the words left his mouth, the attendants covered Haman's face. Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali. Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?” Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9 Harbona, one of the king's eunuchs, said, "The seventy-five-foot gallows Haman made for Mordecai, who spoke up for the king, stands at Haman's house." The king said, "Hang him on it." Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
10 So they hanged Haman on the gallows he had prepared for Mordecai, and the king's fury subsided. Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]