Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 That day King Xerxes gave Queen Esther the estate of Haman, the enemy of the Jews. Mordecai came before the king, since Esther had told what he was to her. Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero n’awa Nnabagereka Eseza ebintu byonna ebya Kamani omulabe w’Abayudaaya. Eseza n’ategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi n’ajjanga mu maaso ga Kabaka.
2 The king took off his signet ring, which he had taken back from Haman, and gave it to Mordecai. Esther put Mordecai over Haman's estate. Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.
3 Esther spoke to the king again, fell at his feet, wept, and begged him to stop Haman the Agagite's evil and his scheme against the Jews. Awo Eseza n’agenda ewa Kabaka nate ng’amwegayirira ng’agwa ku bigere bye n’okukaaba nga bw’akaaba, ng’amusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, n’enkwe ze yali asalidde Abayudaaya.
4 The king held out the golden scepter to Esther, and she rose and stood before him. Kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zaabu, amangu ago Eseza n’agolokoka n’ayimirira mu maaso ga Kabaka.
5 She said, "If it pleases the king, if I have his favor, if this seems right to him, and I please him, let letters be written reversing what Haman son of Hammedatha the Agagite planned and wrote to destroy the Jews in all the king's provinces. Eseza n’ayogera nti, “Kabaka bw’anasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era n’awandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka.
6 How can I bear to see disaster strike my people? How can I bear to watch my family destroyed?" Nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba obulabe obulijja ku bantu bange, era n’okulaba okuzikirizibwa okw’ennyumba yange?”
7 King Xerxes told Queen Esther and Mordecai the Jew, "I gave Esther Haman's house, and they hanged him on the gallows because he plotted against the Jews. Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olw’okuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era n’okuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba.
8 Write about the Jews as you see fit, in the king's name, and seal it with his signet ring—no writing in the king's name, sealed with his ring, can be reversed." Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”
9 The king's scribes were called on the third month's twenty-third day—Sivan—and wrote all Mordecai commanded to the Jews and to the satraps, governors, and officials of the 127 provinces from India to Cush: each province in its script, each people in its language, and the Jews in their script and language. Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe.
10 Mordecai wrote in King Xerxes' name, sealed it with the king's signet ring, and sent letters by couriers on fast horses bred for royal service. Moluddekaayi n’awandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero, ebbaluwa n’azissaako akabonero n’empeta ya Kabaka, n’aziweereza zitwalibwe ababaka abeebagala embalaasi ezidduka ennyo ate nga zaakuzibwa mu bisibo bya Kabaka.
11 The king's decree granted the Jews in every city the right to assemble and defend their lives: to destroy, kill, and wipe out any armed force of any people or province attacking them—children and women included—and to plunder their enemies' goods. Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe.
12 This was to take place on one day in all provinces of King Xerxes—the thirteenth day of the twelfth month, Adar. Olunaku olwalondebwa Abayudaaya okukola bino mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero lwe lwali olunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, gwe mwezi Adali.
13 A copy of the decree was to be issued as law in every province and made known to all peoples, so the Jews would be ready that day to avenge themselves on their enemies. Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era n’okumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.
14 Couriers on royal horses rushed out, hurried and pressed by the king's command; the decree was given in Susa's fortress. Awo ababaka abeebagala embalaasi za Kabaka, ne bagenda mbiro, ku kiragiro kya Kabaka, era n’ekiragiro ekiwandiikiddwa ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.
15 Mordecai left the king's presence in royal blue and white, a great gold crown, and a fine linen and purple robe. Susa shouted and rejoiced. Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo.
16 The Jews had light, joy, gladness, and honor. Ate n’eri Abayudaaya kyali kiseera kya ssanyu, n’okujaguza n’ekitiibwa.
17 The king's command and edict reached every province and city; the Jews had joy and delight, feasting, a holiday. Many peoples of the land became Jews, for fear of the Jews gripped them. Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu n’okujaguza n’embaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olw’entiisa ey’Abayudaaya eyali ebakutte.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]