Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On the third day, Esther dressed in royal robes and stood in the inner court of the palace, facing the king's hall. The king sat on his royal throne in the hall, facing the entrance of the palace. Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene.
2 When the king saw Queen Esther standing in the court, she found favor with him, and he held out the gold scepter in his hand. She approached and touched its tip. Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.
3 The king asked, "What's wrong, Queen Esther? What do you request? Up to half the kingdom will be given you." Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
4 Esther said, "If the king is pleased, let him and Haman come today to the banquet I've prepared." Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”
5 "Bring Haman quickly to do as Esther asked," said the king. The king and Haman came to the banquet Esther prepared. Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.”
6 Over wine the king asked, "What's your petition, Esther? It will be granted. And what is your request? Even half the kingdom—it's yours." Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”
7 Esther answered, "My petition and my request is this: Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino.
8 If I've found favor with the king, and it pleases him to grant my petition and fulfill my request, let the king and Haman come to the banquet I'll prepare for them. Tomorrow I'll do as the king says." Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”
9 Haman left that day happy and glad. But seeing Mordecai at the king's gate not rise or tremble before him, Haman was enraged at Mordecai. Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi.
10 Still, Haman held himself back and went home. He sent for his friends and his wife Zeresh, Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka. Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye,
11 Haman told them of his wealth's splendor, his many sons, and how the king had honored and promoted him above the king's officials and servants. era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be.
12 "And that's not all," Haman added. "Queen Esther invited only me with the king to her banquet, and I'm invited again tomorrow with the king. “Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka.
13 Yet all this profits me nothing whenever I see Mordecai the Jew sitting at the king's gate." Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.”
14 His wife Zeresh and all his friends said, "Have them build a pole seventy-five feet high. In the morning, ask the king to hang Mordecai on it. Then go with the king to the banquet, happy." Haman liked this and had the pole built. Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]