Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Mordecai learned all that had happened, he tore his clothes, put on sackcloth and ashes, and went out into the city crying loud and bitter. Awo Moluddekaayi bwe yategeera byonna ebyakolebwa, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeesiiga evvu, n’afuluma n’agenda mu kibuga wakati, n’akaaba n’eddoboozi ddene olw’ennaku ennyingi:
2 He went only to the king's gate, since no one could enter it dressed in mourning clothes. naye n’akoma ku wankaaki wa kabaka, kubanga tewali eyakirizibwanga okuyingira mu mulyango gwa Kabaka ng’ayambadde ebibukutu.
3 In every province the king's order and decree reached, the Jews mourned deeply—fasting, weeping, wailing; many lay in sackcloth and ashes. Mu buli kitundu ekiragiro kya Kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga ne waba okukuba ebiwoobe bingi n’okusiiba n’okukaaba amaziga mangi mu Bayudaaya era bangi ku bo ne bambala ebibukutu.
4 When Esther's young women and eunuchs told her, the queen writhed in anguish. She sent clothes for Mordecai to replace his sackcloth, but he refused. Awo abaweereza ba Eseza abakazi n’abalaawe be ne bajja gyali okumutegeeza ku bibadde wo, era Nnabagereka n’anakuwala nnyo: n’aweereza Moluddekaayi ebyambalo yeyambulemu ebibukutu bye yali ayambadde naye Moluddekaayi n’atabikkiriza.
5 Esther called Hathach, one of the king's eunuchs assigned to her, and sent him to Mordecai to learn what this was and why. Eseza n’atumya Kasaki omu ku balaawe ba Kabaka, gwe yali ataddewo okumuweereza n’amukuutira okugenda okumanya ekizibu ekyali kituuse ku Moluddekaayi era n’ensonga.
6 So Hathach went out to Mordecai in the city square in front of the king's gate, Awo Kasaki n’afuluma n’agenda ebweru mu kifo ekigazi eky’ekibuga ekyayolekera omulyango gwa Kabaka, Moluddekaayi gye yali.
7 Mordecai told Hathach all that had happened to Mordecai, and the exact sum Haman promised to pay into the king's storerooms to destroy the Jews. Moluddekaayi n’amutegeeza byonna ebyamutuukako, n’omuwendo gw’ensimbi Kamani gwe yali asuubizza okuteeka mu ggwanika lya Kabaka olw’okuzikiriza Abayudaaya.
8 He also gave him a copy of the destruction decree issued in Susa, to show Esther, explain it, and urge her to go plead with the king and beg for her people. Era n’amuwa n’ebyaggyibwa mu kiwandiiko eky’etteeka eryalaalikibwa mu Susani, okuliraga Eseza n’okulimunnyonnyola ate era n’okukuutira Eseza okugenda amwegayiririre ye n’abantu be eri Kabaka.
9 Hathach came back and reported to Esther what Mordecai had said. Amangwago Kasaki n’agenda n’abuulira Eseza ebigambo Moluddekaayi bye yali amutegeezezza.
10 Then Esther spoke to Hathach and gave him this message for Mordecai: Awo Eseza n’alagira Kasaki okuzzaayo obubaka ewa Moluddekaayi nti,
11 "All the king's servants and people of his provinces know: any man or woman who enters the king's inner court unsummoned has one law—death—unless the king holds out the golden scepter to them, so they live. And I have not been called to the king for thirty days now." “Abakungu ba kabaka bonna n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna eby’obwakabaka bakimanyi nti tewali musajja oba mukyala eyeeyanjula mu maaso ga Kabaka mu luggya olw’omunda ng’atayitiddwa kabaka. Era waliwo n’etteeka nti akolanga bw’atyo attibwenga, wabula nga Kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zaabu, n’aba omulamu. Naye wayiseewo ennaku amakumi asatu kasookedde mpitibwa kugenda wa kabaka.”
12 When they told Mordecai what Esther had said, Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku Moluddekaayi,
13 Mordecai replied to Esther: "Don't think that in the king's palace you alone of all the Jews will escape. Moluddekaayi n’amuddamu nti, “Tolowooza nti olw’okuba oli mu lubiri lwa Kabaka, gwe onowonawo wekka mu Bayudaaya bonna.
14 If you stay silent now, relief and rescue will rise for the Jews from elsewhere, but you and your father's house will die. And who knows whether you reached the throne for such a time?" Kubanga ggwe bw’onoosirika mu kiseera kino, okubeerwa n’okulokolebwa kw’Abayudaaya kuliva awalala, naye ggwe n’ennyumba ya Kitaawo mulizikizibwa. Ate ani amanyi obanga wafuulibwa Nnabagereka lwa kiseera kino?”
15 Then Esther sent back this reply to Mordecai: Awo Eseza n’aweereza obubaka eri Moluddekaayi nti,
16 "Go, gather all the Jews in Susa. Fast for me—no eating or drinking three days, night or day. My young women and I will fast too. Then I go to the king, even though it is against the law; and if I perish, I perish." “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani, musiibe ku lwange, so temulya wadde okunywa ekintu emisana n’ekiro okumala ennaku ssatu. Nze n’abaweereza bange abakyala tunaasiibira wamu nammwe. Ekyo nga kiwedde, ndigenda eri Kabaka, newaakubadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe ndiba ow’okuzikirira, nzikirira.”
17 So Mordecai went away and did everything Esther had commanded him. Amangwago Moluddekaayi n’agenda, era n’akola byonna Eseza bye yamulagira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]