Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this King Xerxes promoted Haman son of Hammedatha the Agagite, elevating him and raising his seat above all the officials with him. Oluvannyuma lw’ebyo Kabaka Akaswero n’akuza Kamani mutabani wa Kammedasa, Omwagaagi era n’amusukkiriza n’amuwa n’entebe ey’ekitiibwa okusinga abakungu abalala bonna.
2 All the king's servants at the king's gate knelt and bowed to Haman, as the king ordered. But Mordecai would not kneel or bow. Era abaddu ba Kabaka bonna abaabeeranga ku wankaaki wa Kabaka baamufukaamiriranga ne bamuwa ekitiibwa, kubanga kyali kiragiro ekyava eri Kabaka. Naye Moluddekaayi teyamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa.
3 So the king's servants at the king's gate asked Mordecai, "Why do you disobey the king's command?" Awo abagalagala ba Kabaka ab’oku wankaaki ne babuuza Moluddekaayi nti, “Nsonga ki ekulobera okugondera ekiragiro kya Kabaka?”
4 Day after day they urged him, but he refused; so they told Haman, to see if Mordecai's stand would hold, since he had told them he was a Jew. Buli lunaku baayogeranga naye ku nsonga eyo naye ye n’agaana okubawuliriza. Ekyavaamu kwe kubuulira Kamani ku nsonga y’emu, balabe oba Moluddekaayi anaakyusa ku nneeyisa ye, kubanga yali yabategeezaako nti Muyudaaya.
5 When Haman saw that Mordecai would not kneel or bow to him, he was filled with rage. Awo Kamani bwe yalaba nga Moluddekaayi tamufukaamirira wadde okumussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwala nnyo.
6 Killing only Mordecai seemed beneath him, since they had told him who Mordecai's people were; so Haman sought to destroy all Mordecai's people, the Jews, throughout Xerxes's kingdom. Bwe yategeera abantu ba Moluddekaayi kye bali, Kamani n’alaba ng’okumutta yekka tekigasa. Kamani n’anoonya engeri gy’ayinza okuzikiriza abantu ba Moluddekaayi, Abayudaaya bonna mu bwakabaka bwonna obwa Akaswero.
7 In the first month, Nisan, in King Xerxes's twelfth year, they cast Pur (the lot) before Haman for each day and each month; and the lot fell on the twelfth month, Adar. Awo mu mwezi ogw’olubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku n’omwezi, era omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali ne gulondebwa.
8 Haman told King Xerxes, "A certain people is scattered and dispersed among the peoples throughout your kingdom's provinces. Their laws differ from everyone's, and they ignore the king's laws; it profits the king nothing to tolerate them. Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti, “Waliwo abantu abasaasaanye ate nga beeyawudde ku mawanga mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwo; n’amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna, era tebakuuma mateeka ga Kabaka. Noolwekyo tekigasa Kabaka kubagumiikiriza.
9 If it pleases the king, let it be written to destroy them; I'll weigh 375 tons of silver to his officials for the royal treasury." Kabaka bw’anasiima, kiwandiikibwe era kiyisibwe, n’okuzikirizibwa bazikirizibwe: nange ndisasula ttalanta eza ttani ebikumi bisatu mu nsavu mu ttaano ebya ffeeza mu ggwanika lya Kabaka.”
10 The king took off his signet ring and gave it to Haman son of Hammedatha the Agagite, enemy of the Jews. Awo kabaka n’aggya empeta ye ku ngalo ye n’agiwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya.
11 "The silver is yours," the king told Haman, "and the people too—do with them as you please." Ate era Kabaka n’agamba Kamani nti, “Ensimbi zikuweereddwa n’abantu bakole nga bw’osiima.”
12 On the first month's thirteenth day the king's scribes were summoned, and Haman's order was written to the king's satraps, the governors over each province, and the officials of every people—each province in its own script, each people its own language. Written in King Xerxes's name, sealed with his signet ring. Ne bayita abawandiisi ba Kabaka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’olubereberye, ne bawandiika byonna nga Kamani bwe yalagira, ne bawandiikira abaamasaza ne bagavana ba buli kitundu, n’abakungu ba buli ggwanga; era n’eri buli kitundu ng’empandiika yaakyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali; byawandiikibwa mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ya Kabaka.
13 Couriers carried letters to all the king's provinces: destroy, kill, and eliminate all Jews—young and old, women and children—in one day, thirteenth of the twelfth month, Adar, and seize their goods. Ebbaluwa zaatwalibwa ababaka mu bitundu byonna ebya Kabaka n’ekiragiro, eky’okuzikiriza, n’okutta n’okumalawo Abayudaaya bonna, abato n’abakadde, abaana abato n’abakazi mu lunaku lumu olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali, awamu n’okunyaga ebyabwe byonna.
14 A copy was to be issued as law in every province, shown to all peoples, so they would be ready for that day. Ebyaggyibwa mu kiwandiike ne biraalikibwa eri amawanga gonna, ekiragiro ne kirangirirwa mu buli kitundu, balyoke beeteekereteekere olunaku olwo.
15 At the king's command couriers rushed out, and the decree went out in the fortress of Susa. The king and Haman sat drinking, but the city of Susa was bewildered. Awo ababaka ne banguwa okugenda olw’ekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]