Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Esther 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Later, when King Xerxes' anger cooled, he remembered Vashti, what she had done, and what was decreed against her. Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo.
2 The king's attendants said, "Let beautiful young virgins be sought for the king. Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera.
3 The king should appoint officers in every province of his kingdom to gather every beautiful young virgin to the fortress of Susa, to the harem under Hegai, the king's eunuch guarding the women, and give them beauty treatments. Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga.
4 Let the young woman who pleases the king reign in Vashti's place." This pleased the king, and he did so. Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.
5 In the fortress of Susa lived a Jew named Mordecai, son of Jair, son of Shimei, son of Kish, a Benjaminite, Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi,
6 exiled from Jerusalem among the captives taken with Judah's king Jeconiah, whom Babylon's king Nebuchadnezzar carried away. eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi.
7 He was raising Hadassah—Esther—his uncle's daughter, who had no father or mother. The young woman was beautiful in form and lovely to see; when her father and mother died, Mordecai took her as his own daughter. Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo.
8 When the king's command and decree were heard and many young women gathered to Susa's fortress under Hegai's care, Esther too was taken to the king's palace, under Hegai's care, keeper of the women. Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka.
9 The young woman pleased him and won his favor, so he quickly gave her beauty treatments and food portions, seven select young women from the king's palace, and moved her and her maids to the best of the harem. Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala.
10 Esther had not revealed her people or family, because Mordecai told her not to. Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera.
11 Every day Mordecai walked back and forth in front of the harem courtyard to learn how Esther was and what happened to her. Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.
12 Each young woman's turn to go to King Xerxes came after twelve months of required beauty treatment: six months with oil of myrrh, six with perfumes and cosmetics. Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira.
13 Each young woman went to the king this way: whatever she asked was given her to take from the harem to the king's palace. Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala.
14 She went in at evening; at morning she returned to a second harem under Shaashgaz, the king's eunuch keeping the concubines. She would not return to the king unless he delighted in her and called her by name. Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.
15 When Esther's turn came—daughter of Abihail, Mordecai's uncle, who had adopted her as his own—to go to the king, she requested nothing except what Hegai, the king's eunuch guarding the women, advised. Esther won favor with all who saw her. Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira.
16 Esther was taken to King Xerxes in his royal palace in the tenth month, Tebeth, in the seventh year of his reign. Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe.
17 The king loved Esther more than all the women; she won his favor and approval above all the virgins. So he set the royal crown on her head and made her queen instead of Vashti. Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.
18 The king held a great banquet for all his officials and servants—Esther's banquet. He proclaimed a holiday in the provinces and gave gifts with royal generosity. Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.
19 Now when the virgins were gathered a second time, Mordecai was sitting at the king's gate. Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri.
20 Esther had not revealed her people or family, as Mordecai directed; she obeyed him just as when he raised her. Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.
21 In those days, as Mordecai sat at the king's gate, Bigthan and Teresh, two royal eunuchs guarding the doorway, grew angry and plotted to kill King Xerxes. Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula.
22 But Mordecai learned of the plot and told Queen Esther, who reported it to the king in Mordecai's name. Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza.
23 The matter was investigated, confirmed true, and both men were impaled on a pole. It was recorded in the book of chronicles before the king. Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]