Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ecclesiastes 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The words of the Teacher, son of David, king in Jerusalem. Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
2 "Utterly fleeting," says the Teacher, "utterly fleeting! Everything is fleeting." “Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu.
3 What does a person gain from all the labor at which they toil under the sun? Omuntu afuna ki mu byonna by’akola, mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
4 A generation goes, and a generation comes, but the earth remains forever. Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja, naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
5 The sun rises and the sun sets, and hurries back to the place where it rises. Enjuba evaayo era n’egwa, ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
6 The wind blows to the south and turns to the north; round and round it goes, ever returning on its circuits. Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo, ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono; empewo yeetooloola ne yeetooloola, n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
7 All the streams run to the sea, yet the sea is never full; the streams return to their source and flow again. Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; ekifo emigga gye gikulukutira era gye gyeyongera okukulukutira.
8 All things are wearisome, more than anyone can express; the eye is not satisfied with seeing, nor the ear filled with hearing. Ebintu byonna bijjudde obukoowu omuntu bw’atasobola kutenda! Eriiso terimatira kulaba, wadde okutu okukoowa okuwulira.
9 What has been is what will be, and what has been done is what will be done; there is nothing new under the sun. Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo, n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa; era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Is there anything anyone can point to and say, "Look, this is new"? It was already here, in the ages before us. Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti, “Laba kino kiggya”? Kyaliwo dda mu mirembe egyatusooka?
11 There is no remembrance of those who came before, and even those yet to come will not be remembered by those who follow them. Tewali kujjukira bintu byasooka era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
12 I, the Teacher, was king over Israel in Jerusalem. Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.
13 I gave my heart to seek and explore by wisdom all that is done under heaven—a miserable task God has given mankind to struggle with. Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya.
14 I saw all the deeds done under the sun, and look—it is all fleeting, a chasing after wind. Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 What is crooked cannot be made straight, and what is lacking cannot be counted. Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa, n’ekibulako tekibalibwa.
16 I told myself, "Look, I have grown great and gained more wisdom than all who ruled Jerusalem before me; my heart has seen much wisdom and knowledge." Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.”
17 I set my mind to know wisdom, and madness and foolishness; I learned this too is a chasing after the wind. Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
18 For with much wisdom comes much grief, and the more knowledge, the more sorrow. Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi; amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]