Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Carefully obey every commandment I'm giving you today, so you may live, multiply, enter, and possess the land our Father swore to your ancestors. Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe.
2 Remember the whole way your Father led you these forty years in the wilderness, to humble and test you, to know what was in your heart—whether you would keep his commandments or not. Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge.
3 He humbled you, made you hungry, then fed you manna which neither you nor your ancestors knew, to teach you that man does not live by bread alone, but by every word from the mouth of our Father. Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
4 Your clothing did not wear out on you, nor your feet swell, these forty years. Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako n’ebigere byo tebyazimba.
5 Know then in your heart that, as a man disciplines his son, so your Father disciplines you. Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.
6 So keep the commandments of your Father, walking in his ways and fearing him. “Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa.
7 For your Father is bringing you into a good land—a land of streams, springs, and deep waters flowing through valleys and hills, Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu.
8 a land of wheat and barley, vines, figs, and pomegranates; a land of olive oil and honey. Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki;
9 A land where you'll eat bread without scarcity, lacking nothing—a land of iron stone, whose hills you'll dig for copper. ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.
10 When you have eaten and are full, you are to bless your Father for the good land he gave you. Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.
11 Be careful not to forget your Father, failing to keep his commandments, rules, and statutes I command you today, “Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.
12 for when you have eaten and are full, and have built fine houses and live in them, Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera;
13 and your herds and flocks multiply, your silver and gold multiply, and all you have multiplies, amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala,
14 then your heart grows proud, and you forget your Father, who brought you from the land of Egypt, from the house of slavery, kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu.
15 who led you through that vast, dreadful wilderness of venomous snakes and scorpions, of drought and no water, who brought you water out of flint rock, Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.
16 who fed you manna in the wilderness, unknown to your ancestors, to humble and test you, and in the end do you good. Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ng’akwetoowazisa era nga bw’akugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi.
17 Watch out—don't say in your heart, "My power, my hand's strength, made this wealth for me." Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’
18 Remember your Father, for he gives you power to gain wealth, to confirm his covenant that he swore to your ancestors, as it is today. Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.
19 But if you ever forget your Father, go after other gods, serve and bow down to them, I testify against you today: you will surely perish. “Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira.
20 Like the nations our Father destroys before you, you too will perish, since you would not obey your Father's voice. Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]