Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hear, Israel: today you cross the Jordan to go in and drive out nations greater and stronger than you—great cities fortified to the sky. Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu.
2 A large, tall people, the descendants of the Anakim, whom you know and of whom you have heard it said: "Who can stand against Anak's sons?" Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?”
3 Know today: your Father crosses ahead of you as a consuming fire. He will destroy them and subdue them before you; you will drive them out and wipe them out quickly, as your Father told you. Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.
4 After your Father drives them out before you, don't say in your heart, "Because of my righteousness our Father brought me in to possess this land"—it's because of these nations' evil that he's driving them out before you. Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go.
5 Not for your righteousness or your heart's integrity are you entering to take their land, but for these nations' evil your Father drives them out before you, and to keep the word your Father swore to your fathers—Abraham, Isaac, and Jacob. Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
6 Know then: your Father gives you this good land to own, not for your righteousness, since you are a stubborn people. Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.
7 Remember, don't forget how you angered your Father in the wilderness. From the day you left Egypt until you reached this place, you've rebelled against your Father. Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino.
8 At Horeb you angered your Father, and your Father was so angry with you that he was ready to destroy you. Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza.
9 When I climbed the mountain to receive the stone tablets, the covenant tablets your Father made with you, I stayed on the mountain forty days and forty nights, eating no bread and drinking no water. Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
10 Your Father gave me the two stone tablets, written by his finger, bearing all the words he spoke with you on the mountain from inside the fire, on the day of the assembly. Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
11 After forty days and forty nights, your Father gave me the two stone tablets, the tablets of the covenant. Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano.
12 Then your Father told me, "Get up, hurry down from here, for your people you brought out of Egypt have ruined themselves. They quickly turned from the way I commanded them; they made themselves a cast idol." Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
13 Furthermore, your Father said to me, "I have seen this people—they are a stubborn people. Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu.
14 Leave me alone; I will destroy them, erase their name from under heaven, and make you a nation stronger and more numerous than they." Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”
15 So I turned and came down the mountain while it burned with fire, the two covenant tablets in my two hands. Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi.
16 When I looked, I saw you had sinned against your Father: you had made yourselves a cast calf, turning quickly from the way your Father commanded you. Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde.
17 So I grabbed the two tablets, threw them from my hands, and shattered them before your eyes. Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.
18 I fell before your Father as before, forty days and forty nights, eating no bread, drinking no water, because of all your sin you committed, doing evil in your Father's eyes, provoking him. Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza.
19 For I feared the anger and burning rage your Father held against you, ready to destroy you. But your Father listened to me then too. Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo.
20 Your Father was very angry with Aaron, ready to destroy him, so I prayed for Aaron then too. Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo.
21 I took your sin, the calf you made, burned it in fire, crushed it, ground it thoroughly until fine as dust, then threw its dust into the stream running down from the mountain. Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
22 At Taberah also, and at Massah, and at Kibroth-hattaavah you provoked your Father to wrath. Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.
23 When your Father sent you from Kadesh-barnea saying, "Go up, take the land I gave you," you rebelled against your Father's command, not believing him or obeying his voice. Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera.
24 You have been rebellious against your Father from the day I knew you. Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.
25 So I fell before your Father those forty days and forty nights I lay there, because your Father had said he would destroy you. Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
26 I prayed to your Father, "My Sovereign Father, do not destroy your people, your heritage, whom you redeemed by your greatness and brought out of Egypt with a strong hand. Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi.
27 Remember your servants Abraham, Isaac, and Jacob. Don't look at this people's stubbornness, their evil, their sin. Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo.
28 Otherwise the people of the land you brought us from will say, 'God couldn't bring them into the land he promised them, and he hated them, so he brought them out to kill them in the wilderness.' Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.”
29 For they are your people, your inheritance, whom you brought out by your great power and extended arm." Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]