Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Moses called all Israel and said to them: "Listen, Israel, to the statutes and rulings I speak in your hearing today. Learn them and carefully do them." Awo Musa n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’abagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka n’ebiragiro bye nkutegeeza ng’owulira ku lunaku lwa leero. Mubiyige era mubigobererenga n’obwegendereza.
2 Our Father made a covenant with us at Horeb. Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu.
3 This covenant our Father made not with our ancestors but with us—all of us alive here today. Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero.
4 Our Father spoke with you face to face at the mountain, from within the fire. Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene.
5 At that time I stood between our Father and you to tell you our Father's word, because you feared the fire and did not go up the mountain. He said: Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene. N’abagamba nti:
6 "I am your Father, who brought you out of Egypt, the house of slavery. “Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
7 "You must have no other gods before me. “Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
8 "Don't make yourself a carved image, any form of what's in the heavens above, on the earth below, or in the waters under the earth. Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
9 Do not bow to them or serve them, for I, your Father, am a jealous Father, charging the fathers' wrongdoing to the children, to the third and fourth generation of those who hate me, Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
10 but showing covenant love to 1,000 generations of those who love me and keep my commandments. Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
11 "Do not misuse your Father's name, for our Father will not leave anyone who misuses his name unpunished. Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
12 "Observe the Sabbath day, to keep it holy, as your Father commanded you. Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira.
13 Six days you are to labor and do all your work, Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga,
14 but the seventh day is a Sabbath to your Father. Do no work—you, your son or daughter, your male or female servant, your ox, donkey, or any livestock, or the foreigner in your towns—so your male and female servants may rest like you. naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe.
15 Remember you were a slave in Egypt, and your Father brought you out from there with a strong hand and outstretched arm. So your Father commanded you to keep the Sabbath day. Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.
16 "Honor your father and your mother, as your Father commanded you, so your days are long and it goes well with you in the land your Father is giving you. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
17 "You must not murder. Tottanga.
18 "You must not commit adultery. Toyendanga.
19 "You must not steal. Tobbanga.
20 "You must not give false testimony against your neighbor. Towaayirizanga muntu munno.
21 "Don't crave your neighbor's wife. Don't desire your neighbor's house, field, male or female servant, ox, donkey, or anything your neighbor owns." Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
22 These words our Father spoke to your whole assembly at the mountain, from within the fire, cloud, and deep darkness, in a loud voice; he added nothing more. He wrote them on two stone tablets and gave them to me. Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.
23 When you heard the voice from the darkness, the mountain blazing with fire, you came to me—all your tribal heads and elders, Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna.
24 and you said, "Look, our Father showed us his glory and greatness; we heard his voice from the fire. Today we saw our Father speak with a person, and that person still lives. Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro.
25 Now why should we die? This great fire will consume us. If we keep hearing our Father's voice any longer, we die. Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.
26 Who of all humanity has heard the living Father's voice speaking from inside the fire, like us, and lived? Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu?
27 Go near, hear all our Father says, then tell us all our Father tells you, and we will listen and obey." Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”
28 Our Father heard your words to me, and our Father told me: "I heard this people's words to you. All they said is right. Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi.
29 If only they kept this heart—fearing me and keeping all my commands always—so it goes well with them and their children forever! Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna!
30 Go and tell them, 'Return to your tents.' Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe.
31 But you, stand here with me, and I will tell you the whole command—the statutes and judgments—you are to teach them, so they will do them in the land I am giving them to possess." Naye ggwe sigala wano nange, ndyoke nkutegeeze amateeka gonna n’ebiragiro, by’ojja okubayigiriza babikolerengako nga bali mu nsi gye mbawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
32 So be careful to do as your Father commanded you; do not turn aside right or left. “Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bw’abalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.
33 Walk the whole way your Father commanded, to live, thrive, and last long in the land you will possess. Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe ly’abalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]