Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is the commandment—statutes and judgments—your Father commanded me to teach you, so you may do them in the land you are crossing over to possess. “Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.
2 So you may honor your Father, keeping all his statutes and commands I give you—you, your children, your grandchildren—all the days of your life, and so you may live long. Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga.
3 Listen, Israel, and carefully do them, so it goes well for you and you multiply greatly in a land flowing with milk and honey, as our Father, the God of your fathers, promised you. Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
4 Hear, Israel: our Father is one. “Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu.
5 Love your Father with all your heart, with all your soul, and with all your strength. Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna.
6 And these words that I command you today are to be on your heart. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.
7 Teach them diligently to your children, and talk about them when you sit in your house and when you walk along the road, when you lie down and when you get up. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
8 Bind them as a sign on your hand, and let them be as bands on your forehead; Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo.
9 and write them on the doorposts of your house and on your gates. Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
10 When your Father brings you to the land he swore to your fathers—Abraham, Isaac, and Jacob—to give you big, good cities you didn't build, “Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba,
11 houses full of every good thing you didn't fill, cisterns already dug you didn't dig, vineyards and olive trees you didn't plant—and when you eat and are satisfied. n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta,
12 Be careful not to forget our Father, who brought you out of the land of Egypt, out of the house of slavery. weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
13 You are to honor your Father and serve him, and you are to swear by his name. “Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga.
14 Do not follow other gods, the gods of the peoples around you, Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde;
15 for your Father among you is a jealous Father, or his anger will flare against you and wipe you off the face of the earth. kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.
16 Do not test your Father as you tested him at Massah. Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa.
17 Diligently keep your Father's commandments, his testimonies, and his statutes he commanded you. Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde.
18 Do what is right and good in our Father's eyes, so it goes well for you, and you enter and possess the good land our Father swore to give your fathers, Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa,
19 driving out all your enemies before you, as our Father has spoken. ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
20 When your child someday asks you, 'What are the testimonies and statutes and judgments our Father commanded you?' “Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?
21 Then tell your child: 'We were slaves to Pharaoh in Egypt, and our Father brought us out of Egypt with a mighty hand. Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
22 Our Father gave great and terrifying signs and wonders against Egypt, Pharaoh, and his whole household, before our eyes. Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba.
23 He brought us out from there to bring us in and give us the land he swore to our fathers. N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa.
24 And our Father commanded us to do all these statutes, to honor our Father, for our good always, to keep us alive, as we are today. Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.
25 It will be righteousness for us if we keep and do all this commandment before our Father, as he commanded us.' Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]