Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Darius appointed 120 satraps over the kingdom, stationed throughout the whole kingdom, Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna,
2 and three officials over them, one of them Daniel, so the satraps would answer to them and the king lose nothing. era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo.
3 Daniel outshone the administrators and satraps, because an extraordinary spirit was in him, and the king planned to set him over the whole kingdom. Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna.
4 Administrators and satraps sought grounds to charge Daniel over the kingdom, but found none—no corruption—since he was faithful; no negligence or corruption was found in him. Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu.
5 Then these men said, "We'll find no charge against Daniel unless we find one in his God's law." Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”
6 So the administrators and satraps went together to the king and said, "King Darius, live forever! Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale!
7 All the kingdom's administrators, prefects, satraps, counselors, and governors agreed the king should issue a royal statute and firm decree: whoever petitions any god or man but you, king, for thirty days, will be thrown into the lions' den. Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma.
8 Now, king, issue the decree and sign it in writing, unalterable, under the law of the Medes and Persians, which cannot be revoked. Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”
9 So King Darius signed the document and the ordinance." Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe.
10 Learning the decree was signed, Daniel went home to his upstairs room, windows open toward Jerusalem, knelt three times daily, and prayed, giving thanks before his Father as always. Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo.
11 Then these men came together and found Daniel praying and pleading for mercy before his Father. Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we.
12 They approached the king about the decree: "Did you not sign a decree that for thirty days, anyone petitioning any god or man except you, king, would be thrown into the lions' den?" The king answered, "The matter stands, by the law of the Medes and Persians, unchangeable." Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?” Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
13 They told the king, "Daniel, one of Judah's exiles, ignores you, king, and your signed decree—praying three times daily." Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
14 Hearing this, the king was deeply troubled, determined to save Daniel, and worked until sunset to rescue him. Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.
15 Then these men gathered before the king and said, "Know, king: by law of the Medes and Persians, no decree or edict the king issues can be changed." Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”
16 Then the king gave the command, and they brought Daniel and threw him into the lions' den. The king said to Daniel, "May your God, whom you serve continually, rescue you." Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”
17 A stone was brought, placed over the den's mouth, and sealed by the king with his signet ring and his nobles' rings, so nothing about Daniel could change. Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri.
18 Then the king went to his palace and fasted that night; no entertainment was brought before him, and sleep fled from him. Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.
19 Then, at the first light of dawn, the king rose and hurried to the den of lions. Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma.
20 Nearing the den, he cried out to Daniel anxiously. The king said to Daniel, "Daniel, servant of the living God, has your God, whom you serve continually, been able to rescue you from the lions?" Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”
21 Then Daniel said to the king, "King, may you live forever! Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka.
22 My Father sent his angel and shut the lions' mouths. They haven't harmed me, because I was found innocent before him, and before you, king, I've done no wrong." Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
23 The king was overjoyed and ordered Daniel lifted from the den. Daniel was lifted out with no injury at all, for he had trusted in his Father. Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
24 The king ordered the men who had falsely accused Daniel brought and thrown into the lions' den—with their children and wives. Before they reached the bottom, the lions overpowered them and crushed all their bones. Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
25 Then King Darius wrote to all peoples, nations, and languages living on earth: "May your peace overflow! Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti, “Emirembe gibeere gye muli!
26 I decree: in all my kingdom, people must tremble and fear before Daniel's God—the living God, enduring forever. His kingdom will never be destroyed; his rule never ends. “Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa. “Kubanga ye Katonda omulamu, abeerera emirembe gyonna; n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo, n’okufuga kwe tekulikoma.
27 He rescues and delivers; he works signs and wonders in the heavens and on the earth; he is the one who rescued Daniel from the power of the lions." Alokola era awonya: akola obubonero n’ebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo g’empologoma.”
28 So this Daniel thrived in the reign of Darius and of Cyrus the Persian. Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]