Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Daniel 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In Belshazzar king of Babylon's first year, Daniel dreamed and saw visions in his head on his bed. He wrote the dream, summarizing the matters. Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.
2 Daniel said: In my night vision I saw the four winds of heaven churning the great sea. Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene,
3 And four great beasts came up out of the sea, each different from the others. n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.
4 The first was like a lion, with eagle's wings. I watched until its wings were torn off; it was lifted off the ground, set on two feet like a human, and given a human heart. “Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.
5 A second beast appeared, like a bear, raised up on one side, three ribs in its mouth between its teeth. It was told, 'Get up, eat much flesh.' “Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
6 After this I watched: another beast, like a leopard, with four bird wings on its back, four heads, and given authority to rule. “Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.
7 After this, in my night vision, a fourth beast appeared—dreadful, terrifying, incredibly strong, with huge iron teeth. It devoured, crushed, and trampled the rest underfoot, different from every beast before it, with ten horns. “N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.
8 While I watched the horns, another—a little horn—rose among them, and three of the first horns were uprooted before it. It had eyes like human eyes and a mouth speaking boastfully. “Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.
9 As I watched, thrones were set in place, and the Ancient of Days, our Father, took his seat. His clothing was white as snow; the hair of his head was like pure wool. His throne was flaming with fire, and its wheels were all ablaze. “Era nga nkyali awo ne ndaba, “entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo, n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga. Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro, ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
10 A river of fire flowed out, streaming from before him. Thousands of thousands served him, and 10,000 upon 10,000 stood before him. The court sat, and the books were opened. Omugga gw’omuliro nga gukulukuta, nga gukulukutira awo mu maaso ge. Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga, n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kutandika, ebitabo ne bibikkulwa.
11 I watched because of the boastful words the horn spoke; I watched until the beast was killed, its body destroyed and given to the burning fire. “Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa.
12 The rest of the beasts lost authority but had their lives prolonged for a set time and season. Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
13 In my night vision I looked, and there before me, coming with the clouds of heaven, was one like a son of man. He approached the Ancient of Days, our Father, and was led into his presence. “Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge.
14 And he was given authority, glory, and a kingdom, so that all peoples, nations, and languages would serve him. His dominion is an everlasting dominion that will not pass away, and his kingdom is one that will never be destroyed. N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
15 I, Daniel, was troubled in spirit, and the visions that passed through my mind alarmed me. “Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza.
16 I approached one of those standing there and asked him the truth about all this. He told me, revealing its interpretation. Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna. “N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti,
17 'These four great beasts are four kings who will rise from the earth. ‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi.
18 But the holy ones of the Most High, our Father, will receive and possess the kingdom forever, forever and ever. Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
19 Then I wanted the truth about the fourth beast, different from all others—most terrifying, iron teeth, bronze claws—devouring, crushing, and trampling what remained underfoot. “Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo.
20 I also wanted to know about the ten horns on its head, and the other horn that came up before which three fell—the horn with eyes and a boastful mouth, appearing bigger than the rest. Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.
21 As I watched, this horn was waging war against the holy ones and was defeating them, Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula,
22 until the Ancient of Days, our Father, came, judgment was given for the holy ones of the Most High, our Father, and the holy ones' time came to possess the kingdom.' okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
23 He said: 'The fourth beast is a fourth kingdom on earth, unlike all other kingdoms. It will devour, trample, and crush the whole earth. “N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta.
24 The ten horns: ten kings will arise from this kingdom. After them another arises, different from the first, and subdues three kings. Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu.
25 He will speak words against the Most High, our Father, oppress the holy ones of the Most High, our Father, and try to change the set times and the law. The holy ones will be handed to him for a time, times, and half a time. Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.
26 But the court will sit in judgment, and his dominion will be taken away, consumed and destroyed forever. “ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala.
27 Kingdom, dominion, and greatness of all kingdoms under heaven will be given to the people, the holy ones of the Most High, our Father. His kingdom is a kingdom without end; all rulers will serve and obey him.' N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
28 This ends the matter. I, Daniel—my thoughts terrified me, my face turned pale, but I kept it to myself. “Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]