Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father sent Nathan to David. He came and said, "Two men lived in a certain city, one rich, one poor. Awo Mukama n’atuma Nasani eri Dawudi amugambe nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga ekimu, omu nga mugagga, omulala nga mwavu.
2 The rich man had very many flocks and herds, Omugagga yalina ebisibo by’endiga bingi n’ente nnyingi;
3 but the poor man had only one little ewe lamb he had bought. He raised it, and it grew up with him and his children. It ate from his plate, drank from his cup, lay in his arms; it was like a daughter to him. naye omwavu nga taliiko bw’ali wabula yalina omwana gw’endiga gumu nga muluusi gwe yagula. N’alabirira omwana gw’endiga ogwo, ne gukula n’abaana be, ne gugabananga ku mmere ye, ne gunyweranga wamu naye, era n’aguleranga. Gwali ng’omwana we owoobuwala gy’ali.
4 A traveler came to the rich man, but he would not take from his own flock or herd to feed the guest who had come. So he took the poor man's ewe lamb and prepared it for the man who had come to him." “Lwali lumu ne wajja omutambuze eri nnaggagga, naye nnaggagga oyo n’atayagala kuddira emu ku ndiga ze oba nte ze okuteekerateekera omutambuze oyo ekyokulya. Kyeyava addira omwana gw’endiga guli ogw’omwavu n’aguteekerateekera omugenyi we.”
5 David burned with great anger at the man and told Nathan, "As our Father lives, the man who did this deserves to die! Awo Dawudi n’asunguwalira nnyo omusajja nnaggagga, n’ayogera nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa
6 He must repay the lamb four times over, because he did this and had no pity." okusasula emirundi ena olw’ekikolwa ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe.”
7 Then Nathan said to David, "You are the man! This is what our Father, the God of Israel, says: I anointed you king over Israel, and I rescued you from Saul's power. Nasani n’agamba Dawudi nti, “Omusajja oyo ye ggwe. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, ne nkulokola mu mukono gwa Sawulo,
8 "I gave you your master's house and his wives into your arms, and the house of Israel and Judah. And had this been too little, I would have given you much more. ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne nkukwasa ne bakyala ba mukama wo, ne nkuwa ennyumba ya Isirayiri ne Yuda; ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi n’okusingawo.
9 Why have you despised my word, doing evil in my sight? You struck Uriah the Hittite with the sword, took his wife as your own, and killed him with the sword of the Ammonites. Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.’
10 So now the sword will never leave your house, because you despised me and took the wife of Uriah the Hittite as your own. Wamutta n’ekitala eky’Abaana ba Amoni. Noolwekyo ekitala tekiriva mu nnyumba yo, kubanga onnyoomye n’otwala mukyala wa Uliya Omukiiti n’omufuula owuwo.
11 This is what our Father says: I will bring disaster on you from your own house. Before your eyes I will take your wives, give them to a man close to you, and he will lie with them in broad daylight. “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana.
12 You did this in secret, but I will do this thing before all Israel, in broad daylight." Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ”
13 David told Nathan, "I have sinned against our Father." Nathan replied, "Our Father has also removed your sin; you will not die." Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n’addamu nti, “Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe.
14 But because you have shown deep contempt for our Father by this deed, the son born to you will die. Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.”
15 Then Nathan went home. And our Father struck the child Uriah's wife had borne to David, and he became gravely ill. Nasani bwe yaddayo eka, Mukama n’alwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala.
16 David pleaded with our Father for the boy. He fasted, went in, and spent the nights lying on the ground. Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lw’omwana, n’asiiba, n’agenda mu nnyumba ye n’amala ekiro kyonna nga yeebase wansi.
17 The elders of his household stood beside him to lift him from the ground, but he refused and would not eat with them. Abakadde ab’ennyumba ye ne bagendanga gy’ali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye n’agaana.
18 On the seventh day the child died. David's servants feared telling him the child was dead, for they said, "While the child lived, we spoke to him and he wouldn't listen. How can we say the child is dead? He may harm himself." Ku lunaku olw’omusanvu omwana n’afa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, n’atatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.”
19 But David saw his servants whispering and realized the child was dead. So he asked, "Is the child dead?" "He is dead," they said. Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.”
20 David got up from the ground, washed, put on oil, and changed his clothes. He went into the house of our Father and worshiped, then went home, and at his request they set food before him, and he ate. Awo Dawudi n’ava wansi, n’anaabako, ne yeerongoosa, n’akyusa ebyambalo bye, n’alaga mu nnyumba ya Mukama n’asinza. Oluvannyuma n’addayo mu nnyumba ye, n’asaba emmere, n’alya.
21 His servants said, "What is this you have done? While the child lived, you fasted and wept; now that he's dead, you get up and eat." Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!”
22 He said, "While the child lived, I fasted and wept, thinking, 'Who knows? Our Father may be gracious to me and let the child live.' N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’
23 But now he is dead. Why should I fast? Can I bring him back again? I will go to him, but he won't return to me." Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy’ali, naye ye talikomawo gye ndi.”
24 Then David comforted his wife Bathsheba. He went to her and slept with her, and she bore a son. He named him Solomon. Our Father loved him, Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama n’amwagala,
25 and he sent word by Nathan the prophet, who named him Jedidiah, for our Father's sake. era olw’okwagala okwo, Mukama kyeyava atuma Nasani nnabbi n’amutuuma Yedidiya, amakulu nti ayagalibwa Mukama.
26 Meanwhile Joab fought against Rabbah of the Ammonites and captured the royal city. Mu biro ebyo Yowaabu n’alwana n’abaana ba Amoni, n’awamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu.
27 Joab sent messengers to David: "I have fought Rabbah and captured its water supply. Yowaabu n’atumira Dawudi nti, “Nnumbye Labba, era n’amazzi gaabwe ngasazeeko.
28 Now gather the rest of the army, lay siege to the city, and take it. Otherwise I will take it, and it will be named after me." Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.”
29 David gathered the whole army, marched on Rabbah, attacked it, and took it. Awo Dawudi n’akuŋŋaanya eggye lyonna n’ayolekera Labba, n’akirumba era n’akiwamba.
30 He took the crown from their king's head—about seventy-five pounds of gold set with a precious stone—and it went on David's head. He carried off great plunder from the city. N’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agyetikkira ku mutwe gwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga.
31 He brought out the people there and set them to work with saws, iron picks, and iron axes, and put them to labor at the brick kilns. So he did to all the Ammonite cities. Then David and all the army returned to Jerusalem. N’aggya abantu abaali mu kibuga, n’abatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi, n’abalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri y’emu n’akozesanga abantu ab’ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi n’eggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]